POLIISI etubidde n’omulambo gw’omukazi omu ku battibwa e Masaka omutemu Kuraish Kamugisha amanyiddwa nga Mujulizi oluvannyuma lw’okubulwako abantu be okugukima.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke yagambye nti omukyala ono y’omu ku bantu abattibwa Kamugisha nga ono yamusalako omutwe poliisi n’eguzuula e Kako ate ekiwuduwudu n’ekizuula e Butale mu ggombola y’e Buwunga nga kisuuliddwa ku lusozi lw’e Mazinga mu September wa 2026.
Abantu Kamugisha be yatta baasobola okumanyika era abantu baabawe ne babatwala ne babaziika. Poliisi yasigaza omulambo gw’omukazi ekyanoonya abooluganda lwe bagukime.
Poliisi bwe yazuula omutwe yasobola okuzuula ekiwuduwudu nga byonna bya mukyala omu wabula ng’ekyabuliddwa ebimukwatako omuli amannya n’ekyalo gye yasibuka wamu n’okumanya abantu be.
Rusoke asabye abantu ababulwako omuntu waabwe batuukirire poliisi ku nnamba z’essimu 0741445532, 0741445534 ne 0741445535 bafune omuntu waabwe.