Amawulire

Abavunaanibwa okukola emivuyo mu bigezo bya UNEB baddiziddwayo e Luzira

KKOOTI esookerwako e Kawempe ng'ekubirizibwa omulamuzi  Doreen Ainembabazi ayongezzaayo okuwulira okusaba kw'okweyimirira kwa omusirikale Takei Augustine ne Mirembe Lydia abavunaanibwa okugingirira ebiwandiiko bya UNEB ne kigendererwa ekyokwagala okukoppera abayizzi ebigezo. 

Mirembe Lydia ne Augustine Tukei nga bali mu kaguli ka kkooti e Kawempe
By: Nuliat Namagembe, Journalist @New Vision

KKOOTI esookerwako e Kawempe ng'ekubirizibwa omulamuzi  Doreen Ainembabazi ayongezzaayo okuwulira okusaba kw'okweyimirira kwa omusirikale Tukei Augustine ne Mirembe Lydia abavunaanibwa okugingirira ebiwandiiko bya UNEB ne kigendererwa ekyokwagala okukoppera abayizzi ebigezo. 

Kino kidiridde omuwaabi wa gavumenti mu musango guno Bruce Twongirwe okutegeeza omulamuzi nti empapula z'eddwaliro ezesigamwako Tuke okweyimirirwa okuva mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okuba engirire n'assaako n'abantu bebaaleeta okubeeyimiria obutaba na bisaanyizo bya kkooti

Wano munamateeka w'abawawabirwa akalambidde nga ayagala abantu be basobole okweyimirwa nga era akasakasa nti ababeeyimira bebaleese balina ebisaanyizo byonna ebibakkiriza mu mateeka nga tebesigamye ku mpapula za ddwaliro.

Omuwaabi wa gavumenti Bruce Twongirwe ayongedde okukalambira kukuteebwa kw'ababiri bano nga ategeezezza nti omusango gwanagomola basibwe emyaka musanvu nga amateeka bwegalagira.

Omulamuzi Doreen Ainembabazi wano wasinzidde n'asindika abasibe okudizibwayo e Luzira okutuuka ng'ennaku z'omwezi 4 omwezi ogujja okwongera okutunulira ensonga eno.

 Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu munamateeka w'ekitongole kino Annet Kemali lulumiriza ababiri nti mu kiseera ky'ebigezo ebya ekibiina  ekyomusanvu, Tukei Augustine eyali awereddwa obuvunaanyizibwa okuyambako UNEB okulondoola ebyokwerinda abayizzi baleme okukoppa ebigezo, kyokka ye mbu yayokesaamu empapula ez'amuweebwa n'agabirako Mirembe Lydia n'abantu abalala abakyanonyezebwa nti n'abasindika mu masomero agenjawulo ne kigendererwa ekyokwekobaana okukoppera abayizzi .

 

Tags: