Amawulire

Abawala 2 abali mu kibinja ekiwamba abaana bakwatiddwa

POLIISI ekutte abantu 5 okuli n'abawala babiri abali mu kibinja ekiwamba abaana ne basaba abazadde ssente ng'eno bwe batiisatiisa okutuusa obulabe ku be babeera bawambye.

Poliisi ng’ekunguzza abaakwatiddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

POLIISI ekutte abantu 5 okuli n'abawala babiri abali mu kibinja ekiwamba abaana ne basaba abazadde ssente ng'eno bwe batiisatiisa okutuusa obulabe ku be babeera bawambye.
Abakwatiddwa ye: Daphne Kyomuhendo, Jane Ngabire, Ponsiano Sunday, Zambazza Zakurodi ne Henry Ssebadduka nga kigambibwa nti bonna batuuze b'e Ntwetwe gye bazaalibwa. Kigambibwa nti, eyo gye balina enfo zaabwe mwe bakuumira abaana ababeera bawambiddwa ng'eno bwe babasaba ssente.

Okukwatibwa kyaddiridde ekibinja kino okuwamba omwana Alloysious Ssekayiba ow'emyaka 3 ne bakanda bazadde be ssente akakadde kamu n’ekitundu oba okumutta singa ssente zibalemerera okubawa mu budde.
Omwana yabbiddwa ku nnyina Oliver Namugenyi e Kakiri mu Wakiso ku Lwokubiri ku ssaawa ez'amalya g'ekyemisana ne batandikirawo okukubira nnyina amasimu nga bamupeeka ssente.
Poliisi y'e Kakiri yatandikiddewo okukola omuyiggo nga balondoola essimu bakira abawambye omwana gye baabadde bakubisa okusaba ssente era okukkakkana nga babakwatidde e Ntwetwe mu disitulikiti y’e Kyankwanzi.
Olugendo lw’okuzuula bano, nnyina w’omwana alunyumya nga lutabaalo. Agamba nti, poliisi y’e Kakiri yamuyambye nnyo kuba olugendo baatambudde luwanvu ddala kyokka nga talina wadde ekikumi ate ne bateekkaanya.
Agamba nti, okuyita mu kiro, amaziga gaasuze gamuyitamu era bwe baatuuse ku poliisi e Ntwetwe, baasoose kubaako we bamukweka, babanoonye.
Agamba, baabakutte kyokka baasoose kuleeta mukyala gw’ataategedde oluvannyuma ne baleeta n’abalala.
Taata w’omwana eyabadde awambiddwa, Alloysious Nyanzi yeebazizza poliisi y'e Kakiri olw’okukola ekisoboka okulaba nga bazuula abantu bano n’okubakwata.
Abakwate bonna bataano bakuumibwa ku poliisi e Kakiri ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso. Omwana eyanunuddwa yakwasiddwa bazadde be.
Bino we bijjidde ng’ekiwamba baana kikudde ejjembe mu bitundu bya Wakiso ebitali bimu nga ku kyalo Kikubampanga waliwo omuvubuka Ssewakiryanga Tonny eyawambibwa ne bakanda bazadde be ssente emitwalo 50, bwe bataaziwaayo mu budde, ne bamutta mu bukambwe. Kyokka omutemu poliisi yamukwata era n’atwalibwa mu kkooti.

Tags: