Amawulire

Ukraine eyokezza amafuta ga Putin

AMAGYE ga Ukraine galumbye ebibuga bya Russia bibiri okuli ekya Syzran ne Novokuibyshevsk ebisangibwa mu kitundu ky’e Samara ne gookya ebifo ebirongooserwamu amafuta ne bisigala ku ttaka.

Essengejjero lya Russia eryakubiddwa.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KYIV, UKRAINE
AMAGYE ga Ukraine galumbye ebibuga bya Russia bibiri okuli ekya Syzran ne Novokuibyshevsk ebisangibwa mu kitundu ky’e Samara ne gookya ebifo ebirongooserwamu amafuta ne bisigala ku ttaka.

Okusinziira ku mikutu gya Telegram okuli Astra ne Exilenova+, abatuuze okuva mu bibuga byombi baataddeyo obutambi n’ebifaananyi ebiraga omuliro nga guteta era ng’amalongoesezo g’amafuta gaggwaawo.
Abatuuze baawulikise mu butambi nga bagamba nti embeera gye baabadde bayitamu yafaananidde ddala ey’olutalo, ne balaga okutya nti n’obulamu bwabwe bwandirugenda.
OLULUMBA KU KIBUGA SYZRAN
Ekifo ky’amafuta mu kibuga kino Ukraine kye yakubye, kirongoosa kumpi ttani 9,000,000 buli mwaka. Amafuta agalongoosebwa mu kifo kino gava mu bukiikakkono bwa Siberia wamu ne mu bitundu bya Samara mwennyini. Ekifo kino ekyayokeddwa obubi ennyo, kibadde kifulumya amafuta okuli aga petulooli, dizero, amafuta g’ennyonnyi n’agakozesebwa emmeeri wamu n’ebyumba ebirala ebizito naddala ebirwanyi.
Okulumba ekifo ky’amafuta kino okubadde kukyasembyeyo, kwabaddewo nga September 15. Okusinziira ku Astra, abakugu mu by’okuzimba ebifo by’amafuta baakizzaawo mangu nga kyakalumbibwa era ne balangirira nti kyali kizzeemu okufulumya obungi bwe kyali kifulumya nga tekinnakubwa.
Okusinziira ku bakugu ba Ukraine abali mu lutalo, baakyogera lunye okuva mu February w’omwaka oguwedde nti ekifo kino kya nkizo nnyo mu kufulumya amafuta Russia ge yeeyambisa mu lutalo era n’ekakasa nti erina okulikuba okutuusa nga lisaaniddewo ddala olwo Russia enafuwe mu nsonga z’olutalo.
OKULUMBA NOVOKUIBYSHEVSK
Ekifo awalongooserwa amafuta mu Novokuibyshevsk, nga nakyo kya Rosneft kyalumbiddwa bubi nnyo era ne kibengeya.
Okusinziira ku mukutu gwa Exilenova+, n’abatuuze mu kitundu kino bagamba nti embeera gye balimu ya lutalo ddala. Obutambi obwafulumiziddwa bulaga olulumba ku kifo ky’amafuta kino. Omukutu guno era gwayongedde okukakasa nti ng’oggyeeko ebifo ebibiri bino ebyakubiddwa, waliwo n’ebifo ebirala mu kitundu kya Samara ebyalumbiddwa mu budde bwe bumu.
Okusinziira ku Astra, ekifo kino ekya Novokuibyshevsk kirongoosa n’okufulumya amafuta agaweza ttani 7,000,000 mu mwaka gumu gwokka era nga kifulumya agakozesebwa mu mmeeri ennwaanyi wamu ne dizero.
Ebifo byombi ebibiri ebyakubiddwa bisobola okufulumya ttani z’amafuta 16,000,000 omwaka. Era Astra yagasseeko nti, abatuuze baategeezezza nti ku ssaawa nga 3:00 ez’ekiro (mu budde bw’amasekkati ga Bulaaya) ku Lwokubiri, obubaka obulabula nti waliwo obulabe obugenda okugwa mu kitundu bwabaweerezeddwa.
Kigambibwa nti, obubaka buno tebwasaasaanidde kitundu kyonna nga bwagenze mw’ebyo byokka ebyabadde bitegeerekese nti bigenda kulumbibwa.

Tags: