Express egenze Tanzania mu za Kagame

Jul 29, 2021

EXPRESS FC ba kyampiyoni ba liigi y’eggwanga sizoni ewedde, basitudde okugenda mu kibuga Dar-es-salaam ekya Tanzania okwetegekera empaka z’ekikopo kya ‘Cecafa Kagame Cup’ ez’omwaka guno.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya GERALD KIKULWE

CECAFA KAGAME CUP 2021

EXPRESS FC ba kyampiyoni ba liigi y’eggwanga sizoni ewedde, basitudde okugenda mu kibuga Dar-es-salaam ekya Tanzania okwetegekera empaka z’ekikopo kya ‘CECAFA Kagame Cup’ ez’omwaka guno.

Leero (Lwakuna July 29, 2021), abazannyi 20 n’abakungu 10 be babitaddemu engatto okwolekera eggwanga lya Tanzania. Empaka zino zitandika ku Mmande ya wiiki ejja August 2-14, 2021.

Express eri mu kibinja C omuli; Young African (Tanzania) ne Big Bullets eya Malawi.

Abazannyi abagenze

Mu ggoolo: Joel Mutakubwa, Denis Otim, Chrispus Kusiima

Abazibizi: Murushid Juuko, Enock Walusimbi (Kapiteeni), Denis Mubuya, Arthur Kiggundu, Issa Lumu Muzeeyi

Abawuwuttanyi: Muzamiru Mutyaba, Ivan Mayanja, Charles Musiige, Daniel Shabene, John Byamukama, Mahad Yaya Kakooza, Abel Michael Etrude

Abateebi: Joseph Akandwanaho, Erick Kenzo Kambale, Martin Kizza, Godfrey Lwesibawa, Faisal Ssekyanzi

Abakungu: Wasswa Bbosa(Mutendesi), James Odoch(Mumyuka), Sam Kawalya(wa baggoolokippa), Enock Kayondo(Musawo), Ayub Balyejusa ne Helen Buteme Koyokoyo(dduyiro), Alex Mugisha(Maneja), Isaac Mwesigwa(Akulira emirimu), Peter Tabu ne Aminah Babirye(mawulire).

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});