RDC ayingidde mu nkaayana z'ettaka ly’e Naggalabi

Aug 12, 2021

OMUBAKA wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Wakiso Justine Mbabazi ayingidde mu nkaayana z'ettaka wakati wa bbulooka Gerald Ssali amanyiddwa nga Mubutu n'abaana babagenzi Haruna Sseruwuma ne Aisha Namusisi erisangibwa e Naggalabi.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya PONSIANO NSIMBI

OMUBAKA wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Wakiso Justine Mbabazi ayingidde mu nkaayana z'ettaka wakati wa bbulooka Gerald Ssali amanyiddwa nga Mubutu n'abaana babagenzi Haruna Sseruwuma ne Aisha Namusisi erisangibwa e Naggalabi.

Ettaka lino liweezako  yiika emu n'ekitundu nga RDC Mbabazi okubiyingiramu kiddiridde poliisi y’e Nsangi okukwata abamu ku bamulekwa okuli; Hamid Kiweesi ne Rashid Lubanga ku bigambibwa nti bagezaako okutiisatiisa Ssali gwe balumiriza okwagala okwezza ekibanja kyabwe mu lukujjukujju.

Bano batwalibwa mu kkooti e Nsangi omulamuzi n’abasindika mu kkomera e Kitalya wabula abooluganda  nga bakulembeddwaamu Edith Nakatudde baava mu mbeera ne batabukira poliisi olw'okwagala okutwalira abasiibe mu mmotoka ya Ssali abavunaana.

Mbabazi nga tannatandika lukiiko olwetabiddwaamu abatwala ebyokwerinda mu kitundu abakulembeddwaamu DPC Joseph Kondele, Ritah Basemere akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Nsangi n'abalala era nga bano nga bali wamu n'abatuuze n'abaffamire basoose kulambula ttaka lino.

Oluvannyuma abaffamire abakulembeddwaamu Hashim Kintu bannyonnyodde RDC engeri ba bbulooka gye bazze babatulugunyaamu omuli n'okubakuba emiggo ate nga ne bwebekubira enduulu ku poliisi okuli eye Nsangi ne Buddo nga tebayambibwa.

Ono yabadde n’ebifaananyi ebiraga effujjo erizze libakolebwako bye yalaze RDC okwabadde n’ekiraga omu ku baganda be ng'akubiddwa bubi nnyo babbulooka bano olwokugezaako okulwanirira ekibanja kyabwe.

Ssali agambibwa okukola effujjo ku bamulekwa bano naye olukiiko yalwetabyemu era ono RDC yamutadde ku nninga annyonnyole engeri gye yafunamu ettaka lino ne bimukalira ku matama nga ne ndagaano zaagamba nti zakolebwa yakkiriza nga ssentebe w’ekyalo bwe yagaana okuziteekako omukono ne sitampu.

Bwe yabuziddwa ky’avunaana abasibe yategeezezza nti bano bamutiisatiisa ekyamuwaliriza okwekubira enduulu ku poliisi eyabakwata n’ebasiba.

Wabula kino kyatabudde RDC n’alagira Basemere annyonnyole engeri bamulekwa gye batuuka e Kitalya awatali kukwata Ssali agambibwa okusaawa emmere n'okuleeta guleeda ku ttaka ssaako okukola effujjo ku bamulekwa nga yeesigama ku bujjulizi bwe bifaananyi. 

Kintu yalumirizza Ssali okwekobaana n'ekitaabwe Ssalongo Muhamood Ssempijja n’abamu ku baganda baabwe awatali kutuula n'abaana bonna ate ng'ekibanja tekigabanibwanga.

Bw’abuuziddwa ebiseera bye yaguliramu ekibanja kino, ategeezezza  nti yagula mu May, nga RDC amutegeezezza mu kiseera ekyo ensonga z'ettaka zonna zaali zaayimirizibwa Pulezidenti, wabula yamutegeezezza nti ye yali amanyi bayimiriza bagula ttaka si babibanja.

 

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});