Kapiteeni wa tiimu ya KHC awaze oluvannyuma lw'obuwanguzi obusooka
Sep 01, 2021
Kapiteni wa tiimu ya KHC stallions Jordan Mpiima asuubira nti okuwangula omuzannyo gwabwe ogusoose okuva liigi weyayimilizibwa kigenda kibongede essuubi ly'okuwangula liigi y'omwaka guno

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Lwanga Charles
EBYAVUDDE MU LIIGIU YA HOOCKY
KHC Stallions 10 MUK 0
CITY LIONS 1 Weatherhead 6
WHD historical 4 KHC originals 4
Wananchi 8 Rockets 0
Kapiteeni wa tiimu ya KHC stallions Jordan Mpiima asuubira nti okuwangula omuzannyo gwabwe ogusoose okuva liigi weyayimilizibwa kigenda kibongedde essuubi ly'okuwangula liigi y'omwaka guno
“okuwangula omuzannyo gwaffe ogusoose kituzizaamu amaanyi nti tujakuwangula liigi ya sizoni eno,” Mpiima weyategeezeza nga omuzanyo guwede
Bino yabyogedde nga tiimu ya KHC stallions yakubye nefutiza tiimu ya MUK Stingers 10-0 ku sande akawungeezi
Mpiima yayolesea omutiindo ogwwenjawulo mumakati gekisaawe nafunayo nobude okuteeba goolo ssatu(3) wewaawo nga Richard Ssemwogerere naye yateebye goolo satu, ela nga nga Steven Kavuma and Sam Mwesigwa bona bateebye goolo biri mumuzanyo guno
No Comment