Abatuuze abakoseddwa enkuba eyabaddemu kibuyaga n’omuzira balaajanidde gavumenti ebayambe
Mar 02, 2023
Abatuuze b’e Lwengo ne Ntoozi mu muluka gw’e Lwengo mu ggombolola y’e Bananywa mu disitulikiti y’e Kyankwazi bali mu maziga, nnamutikwa w’enkuba bw'atonye ng’erimu omuzira n'ekibuyaga n’aleka ng’ebirime byabwe byonoonese n’okubambulako amayumba gaabwe amabaati ne balaajanira Gavumenti ebayambe.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Gerald Ssenkoomi
Abatuuze b’e Lwengo ne Ntoozi mu muluka gw’e Lwengo mu ggombolola y’e Bananywa mu disitulikiti y’e Kyankwazi bali mu maziga, nnamutikwa w’enkuba bw'atonye ng’erimu omuzira n'ekibuyaga n’aleka ng’ebirime byabwe byonoonese n’okubambulako amayumba gaabwe amabaati ne balaajanira Gavumenti ebayambe.
Enkuba eno eyatonyedde essaawa nga ttaano yabaddemu n’omuzira ng’era ebitooke, emmwaanyi n’ebirime ebirala byayonoonese.
Nnamwandu Ng’atudde N’abaana Be Abaasangidwa Mu Nju Ng’embuyaga Etwala Amabaati.
Abatuuze bagamba nti enkuba eno ebayisizza bubi nnyo kubanga ebirime byabwe nga kasooli, ebijanjaalo bibadde bituuse okukoolebwa nga basuubira okufunamu ssente.
Basabye gavumenti ne ofiisi ya Katikkiro wa Uganda ekola ku bigwa bitalaze okubayamba.
Ssentebe w’ekyalo Lwengo, Nakejju Suleiman yagambye nti ekitundu kyabwe kibaddemu abalimi b’ennyanya bangi naye zonna zaayonooneddwa omuzira.
Omubaka omukazi akiikirira Kyankwazi mu Palamenti, Christine Bukenya Ssendawula yatuuse mu kitundu n’ayambako ku nnamwandu Kyomugisa Medias, ennyumba ye eyatikkuddwaako amabaati.
No Comment