Agambibwa okumenya ennyumba n'abbamu amasimu ne ssente asindikiddwa Luzira
Apr 25, 2023
MUSAJJAMUKULU agambibwa okumenya n'ayingira mu nju y'omutuuze n'abbamu essimu n’e ssente asindikidwa mu kkomera e Luzira.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Bya Paul Galiwango
MUSAJJAMUKULU agambibwa okumenya n'ayingira mu nju y'omutuuze n'abbamu essimu n’e ssente asindikidwa mu kkomera e Luzira.
Francis Nkulunziza 41 omutuuze w’e Makindye Kizungu mu Kampala y'asimbidwa mu kkooti ya LDC e Makerere maaso g'omulamuzi Martins Kirya n’amu somera emisango ebiri okuli okumenya n'ayingira mu nnyumba n'ekigendererwa eky'okubba wamu n'okubba.
Kigambibwa nti nga April 1, 2023 mu zooni ya Mugema e Kasubi Nkulunziza yamenya n'ayingira mu nju ya Joshua Ssempijja n'ekigendererwa eky'okuzzaamu omusango.
Omusango gw'okubiri Oludda oluwaabi lw’ategeezezza kkooti nti nga April 1, 2023 e Kasubi Nkulunziza yabba essimu bbiri nga ezibalirirwamu ssente 3,320,000 ssente enkalu 1, 530, 000 power bank ya mitwalo 4, n'ensawo ng’ ebalirirwamu emitwalo 7 ng’ omugatte bwe bukadde 4,960,000 nga zaali byali bya Joshua Ssempijja.
Ssempijja yategeezezza kkooti nti muganzi we yali amukyalidde ng’ ensawo omwali sente n'amasimu baali babirese mu ddiiro mu ntebe ne bagenda okukyakala baagenda okudda nga balaba olujji luggule nga bagenda okukebera ng’essimu n'ensawo tebabiraba.
Ssempijja yategeezezza nti essimu ya muganzi we ekika kya IPhone yaddako ne bagikubako eyagirina n'abasaba ssente agiwe owa safe boda agibaddize era ne bamusindikira emitwalo 5 wabula nagiggyako nga bwe yaddako ne bagitulakinga ne bagisanga ne munnansi wa Congo eyabatuusa ku Nkulunziza gwe yategeezezza eyagimuguza.
Nkulunziza omusango yagyegaanyi omulamuzi Kirya n'amusindika mu kkomera e Luzira okutuusa nga May 17, 2023 lw’anaddizibwa mu kkooti okuwulira omusango ogumuvunanibwa wadde nga yabadde asabye okweyimirirwa.
No Comment