Abasiraamu beeyiiye ku muzikiti e Kibuli okujjukira amadda ng’omugenzi Nuhu Kyabasinga Mbogo
Jun 25, 2023
Abasiraamu okuva mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo batandise okweyiwa ku muzikiti e Kibuli okujjukira amadda ga jjajja w'Obusiraamu omugenzi Nuhu Kyabasinga Mbogo ng'ava mu buwanganguse e Zanzibar.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Meddie Musisi
Abasiraamu okuva mu bitundu by'eggwanga eby’enjawulo batandise okweyiwa ku muzikiti e Kibuli okujjukira amadda ga jjajja w'Obusiraamu omugenzi Nuhu Kyabasinga Mbogo ng'ava mu buwanganguse e Zanzibar.
Mu bagenyi abaakatuuka mwe muli bamaseeka abavudde e Zanzibar ssaako n'abo abavudde mu bitundu by'eggwanga ebyenjawulo omuli: Arua, APAC, Masindi, Mbarara, Kasese n'ebitundu ebirala.
Abamataali Nga Batandise
Mu kiseera kino Supreme Mufti Muhammad Garabuzi naye atuuse nga Kati balindiridde omugenyi omukulu Sheikh Dr. Kassim Nakibinge omukolo okutandika mu butongole.
Bakalifa ab’enjawulo n'ebibinja byabwe eby’abakubi b'amataali be bali mu kusanyusa Abasiraamu.
No Comment