Bya Dickson Kulumba
OBWAKABAKA bwa Buganda buyimirizza abayizi b'amasomero okujja ku mikolo egikolebwa e Bulange -Mmengo nga bwe bwetegereza entambula y'obulwadde bwa Ebola.
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yasinzidde Bulange -Mmengo eggulo n'ategeeza ng'okusalawo bwe kugendereddwaamu okutaasa obulamu bw'abantu kubanga bwe banabeera abalamu,ebirala byonna bajja kubikola.
Guno gubadde mukolo Mayiga kwatikkulidde abantu okuva mu magombolola ag'enjawulo okuva mu masaza okuli Buvuma, Kyadondo, Butambala ne Buddu oluwalo lwabwe olw'okukulaakulanya Obuganda era Katikkiro n'ayongera okulambulira Obuganda amakulu g'enteekateeka y'Oluwalo.
Mayiga yeebazizza abayizi ba Janan Schools - Kabalagala olw’oluyimba 90-90-90 olulabula abantu ku bulwadde bwa mukenenya n’agamba nti ku mulembe guno Omutebi abantu tebasaanye kufa siriimu.
Mike Kironde, Akulira Janan School Ng'ayogera.
Abayizi Ba Janan Schools Kabalagala Nga Bayimba.
Ab'e Kyanamukaka N'emmere Gye Baleetedde Katikkiro
Ab'e Kyanamukaka Nga Bakwasibwa Ekifaananyi Kya Kabaka
Mu Luwalo oluleeteddwa aba Janan Schools baleese 25,000,000/-, Kyadondo Technical Institute e Busabaala 1,500,000/-, ababaka ba Palamenti, Robert Migadde Nduggwa 1,000,000/-, Suzan Nakaziba Mugabi 500,000/-,Ying. Richard Ssebamala eyazze n’abe Kyanamukaka 2,000,000/- n’abalala baawaddeyo oluwalo oluweredde ddala obukadde 62.
Minisita Kawuki ategeezezza nti obuweereeza bw’abaami ba Kabaka bukyuse nnyo mu kiseera kino nga kati baweerereza mu maaso so ssi kuduumira nga bava mabega n'abeebaza olw'okulambikanga obulungi abantu ba Buganda.
Mike Kironde, akulira Janan Schools era nga ye Ssentebe w'abatandisi b'amasomero g'obwannanyinni mu Uganda asabye abaddukanya amasomero okulaba nga bateeka mu nkola ebiragiro gavumenti by'etaddewo ebigendererwamu okuziyiza obulwadde bwa Ebola okuli obutakkiriza abazadde okukyala ku masomero ssaako n'obutakola bubaga.