Awerekeddwako Omulabirizi Henry Katumba Tamale owa West Buganda. Ssaabalabirizi avumiridde abagagga abasusse okwekkusa bokka ne batafa ku bantu ba wansi nga batuuse n'okubba ettaka omuli n'eryekkanisa.
Ssaabalabirizi Dr Steven Kazimba Mugalu n'omulabirizi Henry Katumba Tamale nga baanirizibwa n'essanyu mu Sembabule.
Dr. Kazimba Mugalu alaze okutya olw'Abakristaayo abalemeddwa okugoberera Katonda ne batandika okugoberera abakulembeze ab’olubatu nga n'abamu batuuka n'okwekalakaasa nga bakyuusizza omwawule.Omubaka Mary Begumisa ne Shartsi Musherure kuteesa owa Mawogola North mu kwaniriza Ssaabalabirizi e Ssembabule.
Omubaka Omukyala owa Ssembabule disitulikiti Mary Begumisa asabye abantu beeyambise obugenyi bwa Ssaabalabirizi beegatte babeere bumu okusobola okukulaakulanya ekitundu.Abamu ku Bakristaayo abaabaddeyo e Ssembabule.
Omukolo guno gwetabiddwako bannaddiini ab’enjawulo, Shartsi Musherure Kuteesa, akiikirira Mawogola North mu Palamenti, Ssentebe wa disitulikiti y'e Ssembabule, Patrick Nkalubo, Omubaka wa Pulezidenti e Sembabule Caleb Tukaikiriza n'abalala.