Enkuba eyakedde okufudemba mu Jinja egootaanyizza ebyentambula by’emmmotoka mu kitundu ky’e Wanyange oluvannyuma lwa mazzi ga mukoka okusala omwala wakati mu luguudo lwa Jinja-Iganga.
Amazzi agaasaze mu kkubo lino ng'emmotoka zigezezaako okugawagaanyaamu.
Enkuba ey’amaanyi yatandise okutonnya ku ssaawa 9:45 ez’olwegulo ku lunaku lwa Ssande n’emala edakiika nga 40 n’ekya wabula erese abatuuze bagyevuma.
Evuddeko mmotoka okuli ttakisi, lukululana n’ezobuyonjo endala okuva ku luguudo oluva e Jinja okudda ku ludda lw;e Iganga okuluvaako ne zisala peveumenti ne zidda ku luguudo oluva e Iganga okulaga e Jinja ne zitambulira okwo.
Wabula bo baddereeva abalala balabiddwa nga bagumira embeera bwe bavuze mmotoka zaabwe ne bayita mu mazzi agabadde ganjadde wakati mu luguudo.
Amazzi nga ganjadde mu nnyumba za bantu
Amayumba ga batuuze abamu galabiddwa nga amazzi gagayingidde munda era ng’abantu bagasenamu ne kivaako bizinensi eziri mu katundu okugootaana.
Abamu ku batuuze ababadde mu kitundu ekyo bavuddeyo ne batuusa okusaba kwabwe eri abakulembeze okubayamba ku nsonga eno erudde ng’ebeerawo buli nkuba lw’etonnya.
Daniel Muwanguzi ategeezeza nti amazzi gabamazeeko emirembe era abaazimba amayumba baagazimba mu myala kwe kusaba be kikwatako babayambe ku kizibu ekyo.
Abu Bamwidukire okuva e Namaganga eyasangiddwa ng’avuga boda ategeezezza nti amazzi gabafuukidde ekizibu.
Ekimu ku kitundu ekirimu ennyumba ez'okumukumu nga kijjudde amazzi.
Beatrice Muzaki ategeezeza nti waliwo ekigoma ekyali okumpi ku luguudo olw’ekikadde ekyali kiyisa mukoka okuva ku kyalo ky’e Nakanyonyi nga kimutwala wansi ewa Kadaya ku kyalo Budhumbuli wabula nti baakiziba mu kiseera we bazimbira essundiro lya mafuta erimu eri okumpi ne U-turn e Bugembe.
Yagambye nti amazzi gaali tegasala luguudo wabula okuva lwe bassaawo sesundiro lya mafuta, ekizibu we kyatandikira. Ye Mama Chris ategeezeza nti ekizibu kye balina kya mwala era enkuba bw’etonnya guzibikira ne guvaako entambula okugootaana mu kitundu ekyo.
Yeekubidde enduulu eri Omubaka waabwe owa Palamenti akiikirira ekitundu kya Jinja Northern Division, David Aga Isabirye okubadduukirira alabe nga ab’ekitongole kya UNRA babayamba kuba ebintu byabwe eby’omumayumba bifudde ate ebimu ne bitwalibwa n’amazzi ga mukoka.