Amad Diallo aggye Man-u ku kaguwa

MUSAAYIMUTO wa ManU Amad Diallo agiggye ku kaguwa k'okukubwa Southampton esembye ku kimeeza kya Liigi y'e Bungereza bw'akubye ggoolo ssatu mu ddakiika 12 ku 13 ezibadde zibulayo omupiira guggwe.

Amad Diallo aggye Man-u ku kaguwa
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya Willy Semmanda

MUSAAYIMUTO wa ManU Amad Diallo agiggye ku kaguwa k'okukubwa Southampton esembye ku kimeeza kya Liigi y'e Bungereza bw'akubye ggoolo ssatu mu ddakiika 12 ku 13 ezibadde zibulayo omupiira guggwe.

Kino kyaddiridde ggoolo ya kyeteeba eyateebeddwa omuwuwuttanyi wa ManU Manuel Ugarte mu ddakiika ey'a 43 olwo ManU n'etandika okunoonya ey'ekyenkanyi n'ebula.
 
Mu kiseera nga n'abawagizi ba ManU abamu batandise okwamuka ekisaawe kya Old Trafford nga balowooza nti omupiira gugaanye, Amad yavuze omubiira bwannamunigina okutuusa lwe yagugubye mu katimba ka South Ampton mu ddakiika ey'e 82.
 
Aba ManU baabadde bakyajaganyiza ey'ekyenkanyi, Diallo n'ayongera ne goolo eyookubiri mu ddakiika eya 90 olwo ekisaawe ne kibuutikirwa enduulu.
Kyokka mu ddakiika ey'okuna mu zaayongeddwaamu Diallo yazinduukirizza omuzibizi ne kiipa aba South Ampton n'ababbako omupiira n'ateeba ggoolo eyookusatu n'amalamu akagoba.
 
Mu kiseera kino omuvubuka ono enzaalwa za Ivory Coast abadde yaalateeka omukono ku ndagaano empya okuzannyira ManU okutuusa mu 2029 oluvannyuma lw'okutandika okuzannya obulungi okuva omutendesi Ruben Amorim lwe yajja.
ManU olw'okuwangula omupiira guno yalinnye n'eva mu kifo ekya 15 n'edda mu ky'e 12  nga yaakakung'aanya obubonero 26 mu mipiira 21 egya Liigi sizoni eno.