Kkooti egattuludde abafumbo ababadde bamaze emyaka 18 bonna ng'omusajja assa omukazi emiggo

Apr 26, 2025

KKOOTI y’e Nabweru egatuludde obufumbo bw'omusuubuzi w’emmotoka ow’amaanyi ku Pine mu Kampala oluvanyuma ly'omukazi okuddukira mu kooti eno olwa bba okukisussa okumukuba nga emiggo egyabuli kaseera saako n'obwenzi.

NewVision Reporter
@NewVision

KKOOTI y’e Nabweru egatuludde obufumbo bw'omusuubuzi w’emmotoka ow’amaanyi ku Pine mu Kampala oluvanyuma ly'omukazi okuddukira mu kooti eno olwa bba okukisussa okumukuba nga emiggo egyabuli kaseera saako n'obwenzi.

Ebbaluwa Za Kkooti Ezaalagidde Baawukane.

Ebbaluwa Za Kkooti Ezaalagidde Baawukane.

John Namugera ne Gloria Nabukeera Namaganda babadde bamaze ebbanga lya myaka 18 mu bufumbo bwabwe wabula nga obufumbo buno okusinziira ku Nabukeera yagambye nti abadde tabulinaamu ssanyu olw'omusajja okusussa okumutulugunya buli lw’akomawo awaka.

Namugera nga musubuuzi wa mmotoka ow’amaanyi ku pine era nga bbulooka wa ttaka kigambibwa nti y’omu ku mikwano gya Ssebuufu eyasibibwa ku misango gy’okutta kaasitoma we bwe yafuna obutakkaanya ku nsasula y’emmotoka.

 

Nabukeera agambye nti ensonga eyamutwaaza omusango mu kooti kwe kuba nga omusajja abadde asusizza nnyo okumukuba emiggo buli lw’akomawo awaka, obutalabirira maka ge ssaako obwenzi era n’asaba omulamuzi ku by’obugagga bye bakoze bamuweeko ennyumba yokka ey’awaka gye babeera bagabana.

Nabukeera Bwe Yali Afaanana Ku Kwanjula Kwabwe Nga Bakyali Mu Mukwano.

Nabukeera Bwe Yali Afaanana Ku Kwanjula Kwabwe Nga Bakyali Mu Mukwano.

Agambye nti ensala y'omulamuzi gye yasala n’alagira ennyumba etundibwe, saako n’ettaka okuliteeka mu manya gaabwe bonna ly'e Kiteetikka eriri ku block nnamba 197 plot 481 nga n’emmotoka ya waka nayo erina okutundibwa.

Yagambye nti amaka bwe yagatunda n’agula ettaka yiika satu e Luwero kati omusajja ayagala kulyeddiza kyokka nga akyamubanja obukadde bwe 50 nga wano awanjagidde abazirakisa okuvaayo okumuyamba.

Mu kwogerako ne Namugera ku nsonga z'obufumbo bwabwe, yagambye nti ensonga za kkooti zonna zaggwa era bw’aba nga ddala amubanja amulage lisiiti eraga nti amubanja era nti tagenda kuddamu ku byogerako.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});