Prisons basibye KCCA ku mpingu ne babasuuza ekikopo

Gerald Kikulwe
Journalist @Bukedde
Apr 30, 2023

TTIIMU ya Prisons yeenaazizzaako ennyonta ya myaka etaano nga tebawangula kikopo kya liigi ya kubaka mu ggwanga ey’oku ntikko kye babadde baasemba okuwangula mu 2018.Christine Namulumba Kango Akutte Omupiira Wakati Ng'attunka N'aba Kcca.

Christine Namulumba Kango Akutte Omupiira Wakati Ng'attunka N'aba Kcca.

Ku wiikendi baakubye KCCA obugoba (46-41) mu nsiike eyaggaddewo sizoni ya 2022/2023 era eyabadde esalawo ani kyampiyoni, gye byaggweeredde nga KCCA ebadde erina enkizo ku kikopo kino okuva sizoni bwe yaggyibwako akawuuwo, kigiyise mu myagaanya gya ngalo.

Ttiimu zombi zazze mu nsiike esembayo nga KCCA ekulembedde liigi n’obubonero 37 ate nga Prisons erina 36 mu kyokubiri. Abatendesi ababiri Imelida Nyongesa owa Prisons ne Fred Mugerwa Tabale owa KCCA buli omu n’azannyisa nnotisi.

Abawagizi Nga Basitudde Omutendesi Wa Prisons Imelida Nyongesa.

Abawagizi Nga Basitudde Omutendesi Wa Prisons Imelida Nyongesa.

KCCA yakulembedde ‘quarter’ esooka (11-10), wabula Prisons n’erinnyisa ggiya mu ‘quarter’ eyookubiri n’egiwangula (21-20). Mu kitundu ky’omuzannyo ekyokubiri omutendesi Nyongesa gy’aggyeeyo omuzibizi Viola Asingo n’amusikiza Sylivia Florence Nanyonga eyayongedde obumanyirivu mu kisenge olwo KCCA teyazze ngulu.

‘Quarter’ eyookusatu Prisons yagiwangudde (34-32) n’eyookuna (46-41). Puleesa yayitiridde eri KCCA omuteebi waabwe kayingo Shadia Sseggujja Nassanga n’ayombesa ddiifiri eyamugobye ku kisaawe era wano obuzibu ne bweyongera.

Nassanga baamusikizza Mercy Batamuliiza wabula talina kye yakyusizza, omutendesi n’agyayo Prudence Nakato wakati n’amusikiza omuzibizi Shaffie Nalwanja naye era nga Prisons teddiriza muliro.

Omuwagizi Ng'asitudde Lilian Ajio Eyaliko Kapiteeni Wa She Cranes

Omuwagizi Ng'asitudde Lilian Ajio Eyaliko Kapiteeni Wa She Cranes

Mu nsiike eyasembyeyo, obumanyirivu bwa bassiniya okuli; Lilian Ajio, Sylivia Florence Nannyonga ne kapiteeni Stella Nanfuka, kw’ossa omutindo omulungi ogw’omuteebi Christine Namulumba Kango bye byawanguzza Prisons ekikopo ekyokuna mu byafaayo oluvannyuma lwa (2009, 2017 ne 2018).

Prisons ewangudde ekikopo ku bubonero 38, KCCA (37), NIC (36), Makindye Weyonje (29) n’endala. Sizoni empya 2023/2024 etandika mwezi gujja (June).

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});