Nalukenge agenze Apollon Ladies FC eya Cyprus
Aug 15, 2021
KAPITEENI wa ttiimu y’omupiira gw’abawala abatasussa myaka 17 Juliet Nalukenge, yeegasse ku Apollon Ladies FC eya Cyprus okuzannya ppulo n’awera okuwanika bendera ya Uganda.

NewVision Reporter
@NewVision
Nalukenge 17, eyatandikira omupiira ku Bright Future Parents School Mityana gye yatuulira P.7 ne ku Kawempe Moslem WFC gy’abadde asomera, yakoze endagaano ya myaka ebiri ne Apollon Ladies FC ey’ekibinja ekisooka mu liigi ya Cyprus enkulu.
Agamba nti kino kibadde kimu ku birooto bye okuzannya ppulo era agenda kwongera amaanyi mw’ebyo by’abadde akola okulinnyisa omutindo asobole okufuuka ensonga mu nsi z’abazungu n’okuwanika bendera ya Uganda.
Nalukenge eyalondeddwa
“Tubadde ku muggalo gw’ebyemizannyo mu ggwanga naye nze ssaddiriza kukola dduyiro n’okutendekebwa era omutindo gwange guli bulungi. Kati ke nfunye ppulo ate ng’enda kwongeramu ggiya okukakasa ensi z’abazungu nti Uganda ekyalina ebitone,” Nalukenge bwe yannyonnyodde.
Yagasseeko ng’asibira bazannyi banne entanda y’okukola ennyo okulaba ng’ebitone n’omutindo birinnya buli lukya so si kuddirira ate n’okukuuma empisa n’obwetowaze eri ababasinga ne bebasinga.
Nalukenge n'ekikopo kya CECAFA
Nalukenge ajjukirwa nnyo mu 2019 ng’ayamba ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa mya 17 okuwangula ekikopo kya CECAFA ne COSAFA era n’asitukira mu kirabo ky’omuzannyi w’omwaka omukyala ekya ‘2019 Airtel FUFA Awards’.
Okuva kw’olwo omutindo gwe guzze gweyongera okutuusa leero eya Cyprus bw’emulondodde n’emutwala.
Nalukenge ku ddyo mu mpaka za COSAFA e Mauritius
Nga bawangula ekikopo kya COSAFA e Mauritius, yateeba ggoolo 18 mu mipiira etaano, mu z’okusunsulamu abaneetaba mu ‘ 2021 FIFA Women U17 World Cup’ eyasazibwamu, Nalukenge yali yaakateeba ggoolo 5 mu mipiira 6.
Ono kati yeegasse ku Bannayuganda okuli; Viola Nambi azannyira mu Vaxjo FF (Sweden), Ritah Kivumbi owa Mallbackens IF(Sweden), Edith Vanessa Karungi ali mu Boldklubben af 1893 eya Denmark, Tracy Jones Akiror owa Lindsey Wilson College(USA) ne Sandra Nabweteme ali mu Fimleikafélag Hafnarfjarðar ku bwazike okuva mu Thor/Ka Akureyri(Iceland).
No Comment