Cheptegei, Michael Arereng beetisse engule za Fortebet

ABATEGESI b’engule za ‘Fortebet Real Star Monthly Awards’ bakoze akabaga kwe basiimidde bannabyamizannyo abeetisse omwaka.

Cheptegei, Michael Arereng beetisse engule za Fortebet
By Fred Kisekka
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo

Akabaga kabadde ku ‘Spice Junction’ e Kololo nga keetabiddwaako kamiisona mu minisitule y’ebyenjigirizza n’emizannyo Rev.Canon Duncan Mugumya.

Michael Arereng ku ddyo, Simon Ssesazi, Rev.Canon Duncan Mugumya kamisona w'emizannyo, Isaac Mukasa, Hadijjah Nandago, emabega ku dyo ye Henry Zimbe owa Jude Colour solutions, Alex Muhangi, Ali Katumba, Yasin Nasser, Mary Namagembe owa MTN eyagyeeyo engule ya Chelangat ne Abdallha Muhamad ku kkono.

Ku mukolo guno Joshua Cheptegei alondeddwa nga munnabyamizannyo asinze mu mwaka n’asitukira mu ngule ya ‘Real Super Star sports personality of the year’ olw’okuwangulira Uganda emidaali ebiri mu mizannyo gya Olympics egyabadde e Japan.

Kato Kawuma akulira ebyemizannyo mu lupapula lwa Bukedde ku ddyo ng'akwasa Michael Arereng ku kkono engule ya 'Life Achiver's Award'.

Kato Kawuma akulira ebyemizannyo mu lupapula lwa Bukedde ku ddyo ng'akwasa Michael Arereng ku kkono engule ya 'Life Achiver's Award'.

Michael Arereng omu ku bannamawulire abagundiivu ennyo mu kuweereza emipiira ku leediyo mu myaka gya 80, 90 ne 2,000 yasitukidde mu ngule ya ‘Life time achiever’s awards’ olw’okulafuubanira emizannyo mu ngeri ey’obusukkulumu.

Arereng ajjukirwa nnyo olw’okuwerezza emipiira naddala egya World Cup, Africa Cup, Cecafa ne liigi ya Uganda ey’oku ntikko mu lulimi oluswayiri ku UBC.

Mu balala abawangudde Yasin Nasser ne Ali Katumba abavulumuzi ba mmotoka z’empaka basitukidde mu ngule ya ‘Real Star Crew of the year’, Hadijjah Nandago owa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’abakazi awangudde engule y’omuzannyi w’omupiira owa December, Simon Ssesazzi yasitukidde mu ky’omuzannyi wa Cricket eyasinze mu mwezi gwe gumu, Salah Chelangat n’awangula mu misinde ate George Aporu n’asinga mu Volleyball.