ManU ne Everton ze zisinze okukona mu Premier
May 25, 2022
ManU ne Everton ze zisinze okukona mu Premier sizoni ewedde (2021-22)

NewVision Reporter
@NewVision
ABATUNUULIZI ba Premier wamu ne bakakensa mu kubalirira ebyenfuna balaze nga ManU ne Everton ze zaasinga okukona mu kiraabu 20 ezizannye Premier sizoni ewedde.
Kino bakiggye ku musimbi gwe zaayiwa mu kugula abazannyi n'emisaala gyabwe nga bazigeraageranya ku bifo kiraabu zino bye zaamaliddemu.
ManU yakutte kyakusatu mu ttiimu ezaasinze okusaasaanya ssente ku bazannyi n'emisaala gyabwe (pawundi obukadde 323) ate Everton yakutte kyamunaana ku pawundi obukadde 183. Wabula ManU yamalidde mu kifo kyamukaaga ate Everton kya 16 nga yasimattuse kyambe.
Sancho Manu

Manu Sancho
Man City ye yasinze okusaasaanya (pawundi obukadde 355) n'eddirirwa Chelsea ku pawundi obukadde 333, Liverpool yaakuna ku pawundi obukadde 311 ate Arsenal yaakutaano ku pawundi obukadde 238. Man City era yamalidde mu kifo kisooka, Liverpool yaakubiri, Chelsea yaakusatu, Spurs yaakuna ate Arsenal yaakutaano.
Abakugu bagamba nti ManU ne Everton zaakonye okusinziira ku musimbi gwe zassaamu nga kino kyava ku butamanya bazannyi batuufu be zaalina kugula, okubazannyisa mu bifo ebikyamu ssaako sisitiimu z'abatendesi ezitaakwatayo.
Richarlison owa Everton
Mu ManU baasinze kunokolayo muwuwuttanyi Fred nti ekifo ky'azannya si ManU mwe yali emwagala ng'ewaayo pawundi obukadde 52 eri Shakhtar Donetsk eya Ukraine. Abalala kuliko Pogba, Sancho, Ronaldo ne Fernandes. Baayongeddeko nti waliwo n'abazannyi nga Rashford abafunye omusaala kumpi ogw'obwereere sizoni yonna nga tebayase.
Brighton ne Brentford zaalagiddwa nga ze zaasinze okuganyulwa mu nkozesa ya ssente ku bazannyi bwe zaasaasaanyizza ekitono ate ne zimalira mu bifo ebirungi/. Brighton yamalidde mu kyamwenda (yasaasaanya pawundi obukadde 109) ate Brentford yakutte kya 13.
Baalaze ng'okusaasaanya ku bazannyi kuli waggulu nga mu 1992 Premier we yatandikira buli ttiimu yali ebalirirwa okusaasaanya pawundi obukadde 5.3 ate kati ziri pawundi obukadde 171.
No Comment