ManU esiibudde Pogba

Jun 01, 2022

Kyaddaki ManU esiibudde Omufaransa Paul Pogba oluvannyuma lwa sizoni 6 ng'abazannyira.

NewVision Reporter
@NewVision

MANCHESTER United esiibudde ssita waayo Paul Pogba bwe bakakasizza nga bw’atagenda kubeera muzannyi waabwe sizoni ejja kuba tagenda kuzza ndagaano ye bugya. 

Pogba ng'aweekeddwa Bailly

Pogba ng'aweekeddwa Bailly

Mu kiwandiiko kya bigambo 835, aba ManU beebazizza Pogba olw’ebirungi by’abakoledde mu sizoni 6 zaamaze nabo mu kisanja kye ekyokubiri ne ttiimu eno mw’azannyidde emipiira 226. Ateebye ggoolo 39 ne asisiti 51. 

 

“Buli omu mu ManU asiimye ebirungi by’otukoledde. Tetugenda kwerabira ggoolo ne asisiti ennungi z’otukoledde nga kwogasse n’omutima gwa ttiimu gw’obadde oyolesa,” ekiwandiko bwe kisomye. 

 

Endagaano ya Pogba yaweddeko ne balemwa okukkiriziganya ku ndagaano empya. Juventus gye yazannyirako wakati wa 2012 ne 2016, n’abateebera ggoolo 28 mu mipiira 124. 

Pogba n'ekikopo kya Europa

Pogba n'ekikopo kya Europa

Pogba okukomawo mu ManU, yava mu Juventus gye baamugula obukadde bwa pawundi 89. Mu sizoni ye eyasooka, yabawangulira League Cup ne UEFA Europa League ng’ali wansi wa Jose Mourinho. Yabayamba n’okutuuka ku fayinolo ya Europa mu sizoni ya 2020/21 Villarreal gye yabakubira ku peneti mu kibuga Gdansk. 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});