Munnayuganda omuddusi w'embiro ennyimpi Shida Leni akutte kyakuna mu misinde gya mmita 400 ez’empaka za Senior Athletics Championships egiyindira mu Mauritius.
Shida omuddaali okumuyita mu ngalo kiddiridde okuddukira ssikonda 52. 91 ku fayinolo eyawanguddwa Coetzeee Miranda enzaalwa ya South Afrika ng’ono yaddukidde obudde bwa 51.82.
Niddy Mingilishi enzaalwa ya Zambia ye yakutte ekyokubiri (52.36) nga yaddiriddwa Munnakenya Veronica Mutua eyaddukidde 52.76.
Emisinde gino gyatandika nga June 8 era gyakukomekerezebwa ku Ssande nga June 12.