Ng’omu ku kawefube w'okwetegekera emizannyo gya Commonwealth egy'okubeera mu Birmingham ekya Bungereza okuva nga July 28, ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw'emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation kitutte abaddusi abagenda okukiikira Uganda mu nkambi.
Abaddusi baawuddwamu enkambi2 nga ab'embiro empaavu bali Kapchorwa ate ab'ennyimpi bali Namboole.
Abaddusi nga bavuganya e Namboole
Uganda yayisaawo abaddusi b'embiro ennyimpi 10 okukiika mu commonwealth nga leero 6 be beetabye mu kutendekebwa okwakaasameeme e Namboole. Ku bano kuliko; Tom Dradriga, Shida Leni, Jacent Nyamahunge, Abu Mayanja, Emmanuel Otim ne Haron Adoli nga Halima Nakaayi, Winnie Nanyondo, Tarsis Orogot ne Scovia Ayikoru baali Bulaaya gye beetendekera.
Omutendesi wa ttiimu, Paul Okello agambye nti wiiki eno wennagwerako abaddusi bajja kuba balina enjawulo ya maanyi.
"Abaddusi babadde bawumudde okumala wiiki 2. Bagenze okudda ng’emibiri tegiri ffiti. Naye okutendekebwe kwetukoze kumala okuzza abazannyi bano ku ffoomu," Okello bwe yategezeza.
Mu Commonwealth, Uganda yakukiikirirwa abaddusi 18 nga 10 bakazi ate 8 basajja.
Mu mizannyo gino egyasembayo mu Gold Coast ekya Australia, Uganda yawangula emiddaali 6 nga 5 gyava mu misinde ate ogumu mu bikonde.