Mane asiibudde abawagizi ba Liverpool n'abeebaza okumubeererawo
Jun 22, 2022
'Abawagizi ba Liverpool abalungi, kinzibuwalidde okuzuula ebigambo ebituufu bye nnyinza okukozesa okubeebaza! Mbeebaza okuva ku ntobo y'omutima gwange nti mwebale okutuwagira ate n'okuwagira nze ng'omuntu.

NewVision Reporter
@NewVision
Ndi musanyufu nnyo nti nange mbadde kitundu ku buwanguzi obw'amaanyi kiraabu ya Liverpool bw'etuuseeko mu bbanga lino ery'emyaka 6 lye ngimazeemu.
Mubaddewo mu kaseera akazibu ate ne mu ssanyu. Siribeerabira era mbaagala nnyo, '' Mane bw'asiimye abawagizi ba Liverpool.
Mane 30, w'ayogeredde bino nga yaakamala okwegatta ku kiraabu ya FC Bayern Munich ey'e Girimaani gy'atadde omukono ku ndagaano eneemutuusa mu 2025.
Related Articles
No Comment