Kampala Queens eyongedde okwenywezza

Sep 06, 2022

Kampala Queens eyamalira mu kyokubiri sizoni ewedde n’obubonero 39 eyagala kusitukira mu kikopo kya sizoni eno nga yenwezezza n’abazannyi 5 be yaakagula mu katale.  Aluka baamugasse ku Daisy Nakaziro, Sumaya Komuntale, Teddy Najjuma, ne Asia Nakibuuka. 

NewVision Reporter
@NewVision

MU kaweefube w’okulaba nga bavuganya ku kikopo kya sizoni ejja mu liigi y’abakazi eya FUFA Women’s Super League, Kampala Queens ekansizza Grace Aluka agigumizze. 

Aluka, abadde omuteebi wa Olila High School, nga Queens emuwadde endagaano ya myaka 2. Mu Olila, yateebye ggoolo 10 sizoni ewedde. 

Wadde sizoni ewedde Aluka yazannya ng’omuteebi, asobolera n’okuzannya ng’omuzibizi mu kisenge wakati ne nnamba 3. 

Kampala Queens eyamalira mu kyokubiri sizoni ewedde n’obubonero 39 eyagala kusitukira mu kikopo kya sizoni eno nga yenwezezza n’abazannyi 5 be yaakagula mu katale.  Aluka baamugasse ku Daisy Nakaziro, Sumaya Komuntale, Teddy Najjuma, ne Asia Nakibuuka. 

Kampala Queens eggulawo ne Asubo Gafford Ladies FC eyavudde mu kibinja ekyokubiri nga September 18. 

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});