Kampala Queens ekansizza Hasifah Nassuuna
Sep 20, 2022
Nassuuna yeegasse ku Summaya Komuntale, Teddy Najjuma, Gloria Namakula, Daisy Nakaziro, Elizabeth Nakigozi, Grace Aluka, Asia Nakibuuka n’abalala abaaguliddwa Kampala Queens.

NewVision Reporter
@NewVision
Kampala Queens FC erangiridde nga bw’ekansizza omuteebi Hasifah Nassuuna ku ndagaano ya myaka ebiri.
Ono yavudde mu UCU Lady Cardinals, era yassaawo ekyafaayo kya Munnayuganda yekka eyaakaweza ggoolo 100 mu mupiira gw’abakazi bukya gutandika mu 2015.
Ggoolo y’e 100 yagiweza mu May, 2022 mu mupiira UCU Lady Cardinals bwe yali ekubwa Kampala Queens FC (2-1).
Kampala Queens yeesize muzannyi ono kuba y’omu ku basinga obumanyirivu ku ttiimu eno. Nassuuna yali ku ttiimu ya Kawempe Muslim eyawangula liigi y’abakazi (FUFA Women Elite League) mu sizoni eyasookera ddala 2015 era omwaka ogwo yateeba ggoolo 14.
Ye muzannyi alina likodi y’omukazi akyasinze okuteeba ggoolo ennyingi mu sizoni emu nga mu ya 2017, yateeba ggoolo 26 n’okutuuka leero teri muzannyi yali azzeemu kuziweza.
Yagenda okuva ku Kawempe Muslim mu 2017 ng’abawangulidde ebikopo ebya liigi bisatu eby’omuddiring’anwa. UCU Lady Cardinals agiwangulidde ekikopo kya liigi kimu (2018) ate ne Uganda Cup w’abakazi, mu mwaka ogwo ye yali omuzannyi wa sizoni (MVP) ate eyasinga ggoolo ennyingi (18).
Nassuuna mu mujoozi gwa UCU.
Sizoni ewedde Nassuuna yasibaganye ne Fazilah Ikwaput ne ggoolo 15 ku ngatto y’omuteebi ate nga y’abadde kapiteeni wa Crested Cranes ey’eggwanga ey’omupiira ng’ewangula ekikopo kya CECAFA gw’abakazi.
Nassuuna yeegasse ku Summaya Komuntale, Teddy Najjuma, Gloria Namakula, Daisy Nakaziro, Elizabeth Nakigozi, Grace Aluka, Asia Nakibuuka n’abalala.
Nassuuna asuubirwa okutandika omupiira gwa wiikendi nga Kampala Queens ezannya She Corporate FC mu nsiike ya sizoni eyookubiri. Kampala Queens yawangudde Asubo Ladies (5-0) ku Ssande.
No Comment