Ttiimu ezaatuuka ku fayinolo y'ebika ziraajana
Oct 25, 2022
“Tulina n’abagenze okuzannya ogw’ensimbi okuli; Muzamir Mutyaba eyagenda mu Azam FC ey’e Tanzania, ate Abraham Ndugwa ne Bashir Mutanda bali mu mawanga g’Abazungu bagezesebwa. Ne ttiimu yaffe ey’abawala yalina okuzannya ogw’okulwanira ekyokuna naye nga tetumanyi ddi lwe tulizannya.”

NewVision Reporter
@NewVision
ABADDUKANYA ttiimu z’Ebika by’Abaganda ezaatuuka ku luzannya olw’akamalirizo mu mpaka z’omwaka guno balaajanye olw’okukandaaliriza fayinolo ekibaviiriddeko okusaasaanya ssente ennyingi.
Bano bagamba nti bakyateeka ssente mu kutendekebwa kwa ttiimu zaabwe kyokka nga tebamanyi ddi fayinolo lw’erizannyibwa.
John Sebwato.
Lawrence Kato Sserunjogi, maneja wa ttiimu y’Olugave agamba, twali tugenda mu nkambi eya wiiki emu nga twetegekera fayinolo wabula ne kitasoboka kuba abasambi abasinga baddayo mu kiraabu zaabwe nga toyinza kumala gabaggyayo.
“Tulina n’abagenze okuzannya ogw’ensimbi okuli; Muzamir Mutyaba eyagenda mu Azam FC ey’e Tanzania, ate Abraham Ndugwa ne Bashir Mutanda bali mu mawanga g’Abazungu bagezesebwa. Ne ttiimu yaffe ey’abawala yalina okuzannya ogw’okulwanira ekyokuna naye nga tetumanyi ddi lwe tulizannya,” Kato bw’agamba.
John Sebwato maneja w’Ekika ky’Endiga agamba, twafuna ekiwandiiko okuva e Mmengo nga kitugamba okwetegeka ng’essaawa yonna Ssaabasajja Kabaka w’anaasiimira bajja kuba batutegeeza olunaku lwe tunazannya fayinolo.
Bronson Sserumira ow'Emmamba Namakaka (ku kkono) ng'attunka ne Sulaiman Mutyaba, Owoolugave.
“Tulina abasambi abaddayo mu kiraabu zaabwe wabula ng’okutaataaganyizibwa kwe tulina kwa kusaasaanya ssente n’abazannyi be twasigaza abatalina kiraabu kuba oba olina okubassaamu ssente nga bazze mu kutendekebwa e Wankulukuku,” Ssebwato bw’agamba.
Omuwandiisi w’akakiiko akajulirwamu ak’empaka zonna mu Bwakabaka, Haruna Kyobe agamba nti, “Fayinolo ejja kubaayo, wabula emirundi egisinga erina okubeerako Kabaka nga y’alina okukakasa abategesi b’empaka z’Ebika olunaku olutuufu.”
No Comment