Donny van de Beek bamulongoosezza evviivi
Jan 14, 2023
OMUWUWUTTANYI wa ManU, Donny van de Beek, 25 alongooseddwa evviivi oluvannyuma lw'okulwalira mu mubiira ManU gwe yazannya ne Bournemouth nga January 3, omutendesi Erik ten Hag n'ategeeza nti wa kudda sizoni ejja!

NewVision Reporter
@NewVision
OMUWUWUTTANYI wa ManU, Donny van de Beek, 25 alongooseddwa evviivi oluvannyuma lw'okulwalira mu mubiira ManU gwe yazannya ne Bournemouth nga January 3, omutendesi Erik ten Hag n'ategeeza nti wa kudda sizoni ejja!
Van de Beek eyeegatta ku United ng'ava mu Ajax mu 2020 azze ekosebwa nnyo obuvune era abadde tannakola bulungi okusinziira ku mutindo kwe baamugulira.
de Beek w'alwalidde nga yaakazannyira Man U emibiira 41, abateebedde ggoolo ssatu(3) n'akola n'oluyamba lumu.
Donny Nga Bamufulumya Ekisaawe Oluvannyuma Lw'okulwala.
Van De Beek.
No Comment