Nze okufuna Najjuuko namuggya ku mutimbagano - Omulenzi we avuddeyo n’ayogera
Mar 15, 2023
Sulaiman Male eyasooka okukyala mu maka g’abazadde b’omugole eyabuze nga beetegese omukolo gw’okwanjula omusajja omulala avuddeyo n’ayogera mu mukwano gwabwe.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Ponsiano Nsimbi
Sulaiman Male eyasooka okukyala mu maka g’abazadde b’omugole eyabuze nga beetegese omukolo gw’okwanjula omusajja omulala avuddeyo n’ayogera mu mukwano gwabwe.
Ono yatubuulidde engeri gye bakwanagana ne Bushirah Najjuuko nga bayita ku mitimbagano.
Agambye nti mu kiseera ekyo Najjuuko yali ku kyeyo ate nga Male ali wano era bwe yakomawo ne bakwatagana omukwano ne gutandikirawo.
Abooluganda Lwa Sulaiman Male Okuva Ku Kkono Sulaima Ssemanda, Adadi Kiguli Ne Siraje Nsubuga
Kino kiddiridde Aisha Nalukenge nnyina wa Najjuuko omutuuze w’e Nsangi Katereke okutegeeza nti muwala we Najjuuko yali yamwanjulirako omuvubuka ono ow’e Ndejje Namasuba ng'eno gye baasooka okubeera nga tebannajja Katereke.
Maama wa Najjuuko agamba nti Male bwe yabakyalira omutima gwe tegwamusiima era n’asaba muwala we okumwesonyiwa asigale ne Farouk Mugalu omusomesa w'eddiini.
Nalukengeagamba nti Male yajja asibye enviiri z’Ekiraasi era ng’abavubuka abamuwerekeddeko basibye empale ezaakazibwako eza ‘bbalansi' era nti bonna tebaalina luganda ku Male ekyayongera okumunyiiza wabula ffamire ya Male bino byonna ebyegaanyi.
No Comment