Eyawangudde eky’omuteebi asinga mu liigi ayagala kya East Africa
May 09, 2023
Omuteebi wa Prisons, Christine Namulumba oluvannyuma lw’okumalako sizoni ya liigi y’okubaka eya 2022/2023

NewVision Reporter
@NewVision
Omuteebi wa Prisons, Christine Namulumba oluvannyuma lw’okumalako sizoni ya liigi y’okubaka eya 2022/2023 nga omuteebi asinze okulengera akatimba sizoni ewedde, kati amaanyi agazizza ku kyakusitukira mu ky’omuteebi asinze okulengera akatimba mu buvanjuba bwa Africa.
Abawagizi Ba Prisons Nga Bajaganya Oluvannyuma Lw'okuwangula Liigi.
Namulumba liigi yagimalako nga ateebyemu ggoolo 791 mu mipiira 20 nga mu mpaka za East Africa Netball Club Championships ayagala kuddamu kuleebya bateebi amaleko omwaka nga awangudde ekirabo ky’omuteebi asinga wano ewaka ne mu buvanjuba bwa Africa yonna.
“Ndi mu kutendekebwa okwakaasammeeme okulaba nga sisubwa ggoolo yonna. Eky’okubeera omuteebi asinga nkyagala naye n’ekikopo nkyagala . N’olwekyo tulina okukolera awamu nga ttiimu okulaba nga tutuuka ku buwanguzi mu mpaka za East Africa Netball Club Championships,” Namulumba bwe yategeezezza. Ttiimu Y'okubaka Eya Prisons.
Prisons nga be balina ekikopo kya liigi sizoni eno y’emu ku ttiimu ettaano ezigenda okukiikirira eggwanga mu mpaka za East Africa Netball Championships era ewera na kuddamu kuwangula kikopo kino nga bwe yakikola mu mwaka gwa 2018 ne 2017.
Nga oggyeeko Prisons, kkiraabu endala ezigenda mu mpaka zino kuliko Makindye Weyonje, bakyampiyoni b’empaka zino omwaka oguwedde aba NIC nga Kampala University ne WOB ze zigenda okukiikirira abasajja.
Omuteebi Wa Prisons Christine Namulumba N'omupiira.
Empaka zino eza East Africa Netball Club Championships zaakubeera mu Nairobi ekya Kenya okuva nga ennaku z'omwezi 13-20 omwezi guno ogwa May.
No Comment