NIC ne Prisons ziraze amaanyi mu za East Africa

May 17, 2023

Kkiraabu ya Prisons ne NIC zongedde okuteeka Uganda ku mmaapu mu mpaka z'okubaka eza kkiraabu empanguzi

NewVision Reporter
@NewVision

Kkiraabu ya Prisons ne NIC zongedde okuteeka Uganda ku mmaapu mu mpaka z'okubaka eza kkiraabu empanguzi mu buvanjuba bwa Africa eza East Africa Netball Championships eziyindira mu kibuga Nairobi ekya Kenya.

Prisons Nga Etunka Ne Ulinzi.

Prisons Nga Etunka Ne Ulinzi.

Prisons nga kati ewezezza emipiira essatu gye yaakawangula mu mpaka zino esiitaanye okumegga Ulinzi eya Kenya ggoolo 49 ku 30.Ekitundu ekisooka kiwummudde Prisons ekikulembedde ku ggoolo 26 ku 11. Mu kitundu ky’omuzannyo ekyokubiri omuteebi wa  Prisons  Christine Namulumba asinzizza abazibizi  ba Ulinzi ensumika okukkakkana nga Prisons ewangudde omupiira ogwokusatu mu mpaka zino ggoolo 49 ku 30.Prisons ye kkiraabu yokka etannakubwamu mu kibinja ekyokubiri (B) nga ekikulembedde n’obubonero mukaaga.Bannayuganda abalala ababadde mu nsiike mu kibinja ekisooka aba NIC nabo bawangudde KJT eya Tanzania ggoolo 56 ku 46.

Empaka za East Africa Netball Club Championships ezaatandika ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde, zikomekkerezebwa ku Lwamukaaga lwa wiiki eno mu kibuga Nairobi ekya Kenya.Mu mpaka zino, Uganda yakiikiriddwa kkiraabu ttaano nga ez’abakazi kuliko Makindye Weyonje,NIC ne PRISONS nga ez'abasajja ye Kampala University ne WOB.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});