Aba Netball abaaguzannyako beebugira za Afrika eza Ex- Internationals Netball Championships

May 22, 2023

'Bannayuganda ab’omuzannyo gw’okubaka abaaguzannyako batandise okwebugira empaka z’okubaka ezabaguzanyako eziri ku ddaala lya Africa eza Ex- Internationals Netball Championships ez'okubeera mu ggwanga lya Ghana omwaka guno.

NewVision Reporter
@NewVision

'Bannayuganda ab’omuzannyo gw’okubaka abaaguzannyako batandise okwebugira empaka z’okubaka ezabaguzanyako eziri ku ddaala lya Africa eza Ex- Internationals Netball Championships ez'okubeera mu ggwanga lya Ghana omwaka guno.

Abaaguzanyako bano babadde kye baggye bave e Kenye gye baawangulidde empaka eza ex- international East Africa Netball Championships ezaayindidde  mu kbuga Nairobi ekya Kenya.

E Kenya Uganda yazannye emipiira ebiri ne bannyinimu aba Kenya nga gyonna baagiwangudde.

Kaputeeni Wabaguzannyako Beatrice Zawaadi Ku Ddyo Ne Rosette Kaala

Kaputeeni Wabaguzannyako Beatrice Zawaadi Ku Ddyo Ne Rosette Kaala

Kaputeeni w'abaaguzannyako Beatrice Zawaadi ategeezezza nti eno ntandikwa nnungi mu kaweefube gwe baliko okuzzaawo ekitiibwa kyabwe mu Uganda wamu ne Africa okutwalira awamu.

"Twagala okusigala nga tukuuma ekitiibwa ky'omuzannyo gw'okubaka. Abazannyi ne bwe bannyuka omupiira twagala basigale nga basobola okuzanya omuzannyo guno mu kiti ky'abaaguzannyako," Zawaadi bwe yategeezezza.

Empaka z'okubaka eza Africa ez'abaguzanyako ez'omulundi ogusooka zisuubirwa okuyindira mu kibuga Accra ekya Ghana.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});