Ebyemizannyo

Kabaka ne Pulezidenti basiimye Stuart Mutebi

OBWAKABAKA bwa Buganda busiimye emirimu gya munnamawulire omugenzi Stuart Mutebi, eyaziikiddwa ku Lwokubiri.

Ssekabembe ng'ayogera eri abakungubazi. Ku ddyo nga batwala ssanduuke omuli omulambo gwa Mutebi mu katono.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OBWAKABAKA bwa Buganda busiimye emirimu gya munnamawulire omugenzi Stuart Mutebi, eyaziikiddwa ku Lwokubiri.
Obubaka obwasomeddwa minisita w'abavubuka emizannyo n'okwewummuza e Mmengo, Henry Ssekabembe Kiberu mu kusabira omugenzi mu kkanisa ya St. Steven e Kireka. Ssaabasajja Kabaka yasiimye emirimu gy'omugenzi olw'okwewaayo okuweereza Obwakabaka bwa Buganda okumala ebbanga.

Stuart Mutebi, abadde ayogerera omupiira ku leediyo, yaziikiddwa mu maka ga kitaawe omugenzi Elifazi Wampona Kiwanuka e Kasokoso. Abantu ab'enjawulo okuva e Mmengo, Gavumenti eya wakati n'ab'ebiti ebirala beetabye mu kuziika kuno. Mutebi yafiira mu ddwaaliro e Mulago ku Lwomukaaga.
Minisita w'eggwanga owa tekinologiya n'okulung'amya, Godfrey Kabyanga eyasomye obubaka bwa Pulezidenti, yagambye nti kibi nnyo okufiirwa abantu ab'omugaso n'atendereza omugenzi olw'okuba omukozi ow'enjawulo. Bannaddiini baakulembeddwa Omulabirizi wa Mityana, Ssaalongo James Bukomeko. Mu balala abaabaddewo kuliko; ababaka ba Palamenti okuli owa Kalungu West, Gonzaga Sewungu n'abalala.
Bwanika Sensuwa, abadde akola n'omugenzi yeebazizza Pulezidenti Museveni olw'obuyambi bwe yabawadde okuva omugenzi lwe yafa. Omugenzi yakolako ku Radio Uganda, CBS, Super FM, Star FM ne NBS TV.

Tags: