Beeraze amaanyi mu liigi handball
May 29, 2023
“Ttiimu yaffe ekyali mpya naye tetwagala kukitwala nga kyekwaso, tugenda kwerwanako obutaswazibwa wakati nga tuzimba ttiimu kabiriiti gye tunaakozesa mu muzannyo gya AUUS e Makerere mu December,”
By Gerald Kikulwe
Journalist @New Vision
Eggulo mu liigi ya handball
Abakazi
Kawanda 32-33 Kyengeza
Kyambogo 12-36 Victoria
Police 20-17 UPDF
Mu basajja;
Police 26-36 UPDF
UPDF B 39-23 Evergreen
OLUVANNYUMA lw’okukubwa Ndejje University (35-29) mu liigi ya handball wiiki ewedde, Victoria University obusungu ebumalidde ku Kyambogo bw’egitimpudde obukoba (36-12) n’eyongera akazito ku ttiimu ezikulembedde.
Eggulo ku Ssande, liigi ya handball yazzeemu okuzannyibwa n’ensiike ssatu mu bakazi n’endala bbiri mu basajja ku kisaawe kya Kibuli Primary wabula obuwanguzi bwa Victoria bwawadde abawagizi nti omulundi guno ttiimu yaabwe yandimalira mu bifo ebisava okusingako sizoni ewedde.
Ttiimu ya Kyambogo ng'ewummuddemu.
Sizoni ewedde, baamalira mu kifo kyakuna wabula kapiteeni waabwe Denise Nelima agamba nti Ndejje okubakuba n’enjawulo ya ggoolo 6 mu nsiike yaabwe eyookubiri, kyabanyiiza nnyo.
“Sizoni eno tubadde twagala kuwangula nsiike zonna okutangaaza emikisa gy’ekikopo kye tutunuulidde, wabula tetugenda kuva ku mulamwa era ttiimu zonna ezisigaddeyo tugenda kuzirumba na busungu,” Nelima bwe yategeezezza.
Eno yabadde nsiike ya Victoria University yaakusatu oluvannyuma lw’okuwangula eyasooka nga bakuba Makerere (32-18) nga kati yeebugira Prisons gy’ezzaako.
Kasozi
Arnest Kasozi atendeka Kyambogo mweraliikirivu kuba sizoni tennabatandikira bulungi oluvannyuma lw’okuba ne wiini emu yokka mu nsiike essatu ze baakazannya. Ndejje yabakuba (44-11), ne bafuna wiini ku UPDF (48-11) ate ne Victoria eyabakubye (35-29).
“Ttiimu yaffe ekyali mpya naye tetwagala kukitwala nga kyekwaso, tugenda kwerwanako obutaswazibwa wakati nga tuzimba ttiimu kabiriiti gye tunaakozesa mu muzannyo gya AUUS e Makerere mu December,” Kasozi bwe yategeezezza.
No Comment