Omusumba atuuziddwa ku Busumba bw’e Kanyanya ne bamukutira ebinaamusoomooza
Jul 10, 2023
SSAABADINKONI w'e Gayaza akuutidde Omusumba atuuziddwa ku Busumba bw'e Kanyanya okugumira ebisoomooza by'agenda okusanga mu Bakrisitaayo.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Moses Lemisa
SSAABADINKONI w'e Gayaza akuutidde Omusumba atuuziddwa ku Busumba bw'e Kanyanya okugumira ebisoomooza by'agenda okusanga mu Bakrisitaayo.
Ven. Danstan Kiwanuka Mazinga, Ssabaddinkoni w'e Gayaza ye yakoze omukolo gw’okutuuzza Rev. Canon James Rocky Ssendegeya ku Busumba Bw’obusumba bwe Kayanya ku kkanisa ya St. Johns e Kanyanya mu minisipaali y'e Kawempe.
Obusumba bw'e Kanyanya bulimu ekkanisa nnya; okuli: eya St.Paul, St Luke, St Mark ne St. John's.
Ven Kiwanuka akutidde Rev. Canon Ssendegeya ne mukyala we Margaret Ssendegeya okugumira ebisoomoozza bye bagenda okusanga mu Bakulisitaayo kuba abamu balina emputu, balingirizza nnyo n’ebirala.
Ku Ddyo Geoffrey Kulubya Omukubiriza W'abakrisitaayo W'obusumba Bw'e Gayaza.
Abasabye amaanyi bagateeke mu kuvuba abantu abakyamu babayingize ekkanisa bave mu bikolwa ebikyamu badde eri Katonda .
Rev. Canon. James Rocky Ssendegeya yali musumba ku kiggwa ky'Abakulisitaayo e Namugongo gye yava n'aleetebwa ku kkanisa eno.
Omukolo gwetabiddwaako , Geoffrey Kulubya omukubiriza w"abakrisitaayo mu Bussabaddinkoni bw'e Gayaza, meeya w'e Kawempe Emmanuel Sserunjogi, bakansala ku lukiiko lw'e Kawempe ,Can. Henry Ssegawa.
Abalala kubaddeko omuwandiisi w’Obulabirizi bw'e Namirembe , Rev John Kiyingi, Omusumba w'e mpererewe Rev. Daniel Balabyekkubo okuva e Mukono, Rev. Juliet Kansiime, omubuulizi Michael Kigozi, Isaac Mwesigwa omubuulizi w'e Kanyanya, omwawule Festo Kalungi okuva e Kira n'abalala.
No Comment