Omusumba atuuziddwa ku Busumba bw’e Kanyanya ne bamukutira ebinaamusoomooza

Jul 10, 2023

SSAABADINKONI w'e Gayaza  akuutidde Omusumba atuuziddwa ku Busumba bw'e Kanyanya okugumira ebisoomooza by'agenda okusanga mu Bakrisitaayo.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Moses Lemisa 

SSAABADINKONI w'e Gayaza  akuutidde Omusumba atuuziddwa ku Busumba bw'e Kanyanya okugumira ebisoomooza by'agenda okusanga mu Bakrisitaayo.

Ven. Danstan Kiwanuka  Mazinga, Ssabaddinkoni w'e Gayaza ye yakoze omukolo gw’okutuuzza  Rev. Canon James Rocky Ssendegeya ku Busumba Bw’obusumba bwe Kayanya ku kkanisa ya St. Johns e Kanyanya mu minisipaali y'e Kawempe.

 Obusumba bw'e Kanyanya bulimu ekkanisa nnya; okuli: eya St.Paul, St Luke, St Mark ne St. John's.

Ven Kiwanuka akutidde Rev. Canon Ssendegeya  ne  mukyala we Margaret Ssendegeya okugumira ebisoomoozza bye bagenda okusanga mu Bakulisitaayo kuba abamu balina emputu, balingirizza nnyo n’ebirala.

Ku Ddyo Geoffrey  Kulubya Omukubiriza W'abakrisitaayo  W'obusumba Bw'e Gayaza.

Ku Ddyo Geoffrey Kulubya Omukubiriza W'abakrisitaayo W'obusumba Bw'e Gayaza.

Abasabye amaanyi bagateeke mu kuvuba abantu abakyamu babayingize ekkanisa bave mu bikolwa ebikyamu badde eri Katonda .

Rev. Canon. James Rocky Ssendegeya  yali musumba ku kiggwa ky'Abakulisitaayo e Namugongo  gye yava n'aleetebwa ku kkanisa eno.

Omukolo gwetabiddwaako , Geoffrey Kulubya omukubiriza w"abakrisitaayo mu Bussabaddinkoni bw'e Gayaza,  meeya w'e Kawempe Emmanuel Sserunjogi,  bakansala ku lukiiko lw'e Kawempe ,Can. Henry  Ssegawa.

Abalala kubaddeko omuwandiisi w’Obulabirizi bw'e Namirembe , Rev John Kiyingi, Omusumba w'e mpererewe  Rev. Daniel Balabyekkubo okuva e Mukono, Rev. Juliet Kansiime,  omubuulizi Michael Kigozi, Isaac Mwesigwa omubuulizi w'e Kanyanya, omwawule Festo Kalungi okuva e Kira n'abalala.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});