Ttiimu 'y'ekyalo' eswazizza Arsenal

Nov 15, 2023

Ekyasinze okuswaza Arsenal kya kuba nti yayungudde abamu ku bazannyi baayo aba ttiimu enkulu Fabio Vieira ne Riess Nelson abataayitiddwa ttiimu z’amawanga gaabwe.

NewVision Reporter
@NewVision

Arsenal y’abatasussa myaka 21 eswadde n’eswaluka oluvannyuma lw’okutimpulwa Reading esembye mu League One ggoolo 5-2 mu mpaka za EFL Trophy (English Football League Trophy).

Ekyasinze okuswaza Arsenal kya kuba nti yayungudde abamu ku bazannyi baayo aba ttiimu enkulu Fabio Vieira ne Riess Nelson abataayitiddwa ttiimu z’amawanga gaabwe.

Etteeka ly’empaka zino likkiriza ttiimu za Premier ne Championship, okuleetamu abazannyi babiri abasukka emyaka 21.

Empaka zino zizannyibwa ttiimu za League One ne League Two mu Bungereza ssaako ttiimu z’abatasussa myaka 21 eza ttiimu za Premier ne Championship.

Reading etendekebwa eyali omutendesi wa Southampton, Ruben Selles kyokka bakola bubi mu liigi era be basembye.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});