City Oilers yeetaaga wiini emu okwesogga Champions League wa Afrika
Nov 26, 2023
Omutendesi wa City Oilers Mandy Juruni asabye abazannyi okulinnyisa omutindo gusingeko ku gwe baayolesezza mu kibinja ate beewale okunnyooma Dynamo.

NewVision Reporter
@NewVision
Eggulo ku Lwomukaaga ;
Dynamo – City Oilers
Cape Town – COSPN
CITY Oilers abaakiikiridde Uganda mu za basketball ez'okusunsulamu ttiimu ezinaakiika mu Champions League wa Africa (BAL) omwaka ogujja, bakomyewo mu nsiike nga banoonya wiini emu yokka ku Dynamo eya Burundi okwesogga eza BAL sizoni eyookubiri ey’omuddiring’anwa.
Omutendesi wa City Oilers, Mandy Juruni.
City Oilers okugwang’anako ne Dynamo kyaddiridde okukulembera ekibinja B n’obubonero 6 bwe baawangudde ensiike zonna ssatu nga bakuba COSPN (81-76), JCB eya Zimbabwe (84-71) ne Ferroviario da Beira eya Mozambique (100-86).
Dynamo eya Burundi gye battunka nayo eggulo ku Lwomukaaga ku kisaawe kya Ellis Park Arena mu kibuga Johannesburg ekya South Africa, yakutte kyakubiri mu kibinja A bwe baawangudde ensiike emu yokka nga bakuba Pazi (88-85) ate ne bakubwa NBA Academy Africa (76-71) ne Cape Town n’ebadda mu biwundu (76-61).
Robbinson Opong owa City Oilers.
Omutendesi wa City Oilers Mandy Juruni asabye abazannyi okulinnyisa omutindo gusingeko ku gwe baayolesezza mu kibinja ate beewale okunnyooma Dynamo. “Teri ttiimu etuuka ku semi nga nnafu, tubadde tuzannya bulungi naye twetaaga okwongeramu okulaga ennyonta, eno yokka ye wiini gye twetaaga okuddayo mu za BAL era tugenda kugifuna,” Juruni bwe yategeezezza.
Sizoni ewedde gye baasooka okuteekawo ekyafaayo ky’okwesogga ez’akamalirizo (BAL) bwe baayitawo nga ttiimu eyakwata ekyokusatu oluvannyuma lw’okuwangula Urunani eya Burundi (71-62), kati banoonya kuddayo.
Ttiimu bbiri ezituuka ku fayinolo y’ez'okusunsulamu zino n’eyo eneemalira mu kyokusatu zaakwesogga butereevu eza BAL ez'okuzannyibwa omwaka ogujja.
No Comment