Abawagizi ba Liverpool bamatidde Xabi Alonso
Feb 11, 2024
Gye buvuddeko, omutendesi ono yategeeza abawagizi nti waakukoma sizoni eno okutendeka Liverpool ekyaleka bangi ku bawagizi n’abakulira ttiimu eyo nga basobeddwa omutendesi anaamusikira.

NewVision Reporter
@NewVision
Abawagizi ba Liverpool batandise okusagambiza nga akimezezza okw’enjala nga bagamba nti Xabi Alonso ye mutendesi omutuufu agwanira ttiimu yaabwe.
Kiddiridde Alonso atendeka Leverkusen okuwa Bayern essomo ng’agitimpula ggoolo 3-0. Wano abawagizi ba Liverpool we baavudde okugamba nti eyaliko omuwuwuttanyi waabwe ono, alimu buli kirungo ekisikira Jurgen Klopp.
Gye buvuddeko, omutendesi ono yategeeza abawagizi nti waakukoma sizoni eno okutendeka Liverpool ekyaleka bangi ku bawagizi n’abakulira ttiimu eyo nga basobeddwa omutendesi anaamusikira.
Liverpool eri ku ntikko ya Premier ku bubonero 54 nga Man City eyookubiri eri ku 52 sso nga Arsenal eri ku 49. Leero (Ssande), Arsenal ezannya West Ham ku bugenyi.
No Comment