Abakulembeze ba takisi balambudde paaka mu Nateete ne Lubaga

May 22, 2024

ABAKULEMBEZE ba takisi mu Kampala nga bakulembeddwa Ssentebe w’ekibiina ekigatta abavuzi ba takisi mu Uganda ekya UTOF, Rashid Ssekindi balambudde paaka za takisi eziri mu Lubaga oluvannyuma ne boolekera paaka y’e Nateete okumanya ebizibu by’abatakisi.

NewVision Reporter
@NewVision

ABAKULEMBEZE ba takisi mu Kampala nga bakulembeddwa Ssentebe w’ekibiina ekigatta abavuzi ba takisi mu Uganda ekya UTOF, Rashid Ssekindi balambudde paaka za takisi eziri mu Lubaga oluvannyuma ne boolekera paaka y’e Nateete okumanya ebizibu by’abatakisi.

Ab’e Nateete bategeezezza nti waliwo bakanyama, abaaweebwa omulimu
gw’okukwasa empisa ku nguudo nga bakolagana n’ekitongole kya KCCA, ababatulugunya ne babakolako effujjo.

Akulira takisi mu Lubaga, Charles Sentongo yakkakkanyizza baddereeva n’abategeeza nti emivuyo gyonna egyali mu takisi obukulembeze bwabwe bugezezzaako okugirwanyisa n’asaba aba KCCA obutatulugunya baddereeva. Yasuubizza okunoonyereza ku batulugunya baddereeva

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});