Basimbudde 53 mu Pearl Rally
May 08, 2025
EMPAKA za Pearl of Africa Uganda Rally zitandika leero ne siteegi emu ey’okukwata ebifo by’okusimbulirwamu ku mutendera gw’ezo ezivuganya ku nguleza Afrika ez’enjawulo ng’abalala bwe bawawula ebyuma byabwe.

NewVision Reporter
@NewVision
Lwakuna - Lwamukaaga (May
8-10); Pearl of Africa Rally
EMPAKA za Pearl of Africa Uganda Rally zitandika leero ne siteegi emu ey’okukwata ebifo by’okusimbulirwamu ku mutendera gw’ezo ezivuganya ku ngule
za Afrika ez’enjawulo ng’abalala bwe bawawula ebyuma byabwe.
Ziyiribira mu bitundu by'e Nyabushozi ne Rwempogo mu disitulikiti y'e Kiruhura ne Mbarara.
Munnakenya Karan Patel ye kyampiyoni waazo era nga yazze okulwanirira engule ye.
Eggulo (Lwakusatu), mmotoka 53 ze zaakebeddwa omutindo ku ssundiro ly’amafuta erya Shell Makenke e Mbarara era buli muvuzi awera kussaawo okuvuganya
okw'amaanyi n'okulwanira ebifo eby’oku mwanjo.
Siteegi endala ssatu okuli n’akasaawe zaakuvugibwa enkya (Lwakutaano) ate empaka ziggwe ku Lwomukaaga ne siteegi ttaano, n'okulangirira abawanguzi.
Ebbugumu eringi Pearl Rally ly’ereeta mu bavuzi, omwaka guno lyawalirizza ne Nasser
Ratib okusuulawo ebiragiro by’abasawo ne yeewandiisa mu banaavuganya. Ratib, avugira mu mutendera gw’ezisikira ku mipiira ebiri (2WD) n'amusomera maapu, Sadat Lukwago, bagenda kuvuga Toyota FX. Nasser yafuna akabenje mu EMC Jinja Rally' mu 2023, abasawo ne bamulagira alindeko okuddamu okuvuga ky'agaanyi.
“Nze sirina wannuma. hhenda kulinnya omuliro teri ajja kulaba we mpise, aba 2WD beekaabire, kuba njagala ngule sizoni eno,” Ratib bwe yaweze. Waakuttunka ne kyampiyoni w’engule eno emirundi esatu, Ibrahim Lubega Pasuwa ssaako
Edward Kirumira, akulembedde mu bubonero (44), Amir Kavuma
(39), Ahmed Ssenyonjo (33), n’abalala.
No Comment