Abavuzi b'obumotoka bwa 'Go-Kart', basabye Gavumenti ebayambe ku misolo egigerekebwa

ABAZADDE n'abavuzi b'obumotoka bwa 'Go-Kart', basabye Gavumenti ebayambe ku misolo egigerekebwa ku bumotoka buno nga buyingira mu ggwanga omuzannyo gusobole okukula.

Abavuzi b'obumotoka bwa 'Go-Kart', basabye Gavumenti ebayambe ku misolo egigerekebwa
By Nicholas Kalyango
Journalists @New Vision
#Ebyemizannyo #Kart #Kevin Bebeto #Pupu Ranjit

ABAZADDE n'abavuzi b'obumotoka bwa 'Go-Kart', basabye Gavumenti ebayambe ku misolo egigerekebwa ku bumotoka buno nga buyingira mu ggwanga omuzannyo gusobole okukula.

Ku Lwomukaaga, abavuzi 28 baavuganyizza e Lubowa nga balwanira engule mu mitendera okuli ogw'abakazi, ogw'abato n'ogwa bakafulu. 

Baabadde mu za lawundi eyookubiri ku kalenda yaabwe. Omuzannyo gwa 'Go-Kart' gwe gukolanga akademi eri abavuzi ba mmotoka z'empaka n'aba Formula One.

Bebeto Ng'avuga Mu 'go Kart'

Bebeto Ng'avuga Mu 'go Kart'

Kevin Bebeto, avuganyizza mu bakafulu ate ng'avuga n'emmotoka z'empaka yagambye nti,"Olwaleero akamotoka ke nkozesezza tekabadde ku mutindo era kandeetedde okumalira mu kyokubiri."

Yawagiddwa kitaawe, Pupu Ranjit eyagambye nti, "Twandyagadde okuleeta akamotoka akaffe naye emisolo batusaba mingi.

Singa omuvuzi abeera ku kamotoka akake, kibeera kizibu okukola obubi ne yeekwasa akamotoka kuba y'abeera akeekanikira. Tusaba Gavumenti etuggyireko emisolo olwo omuzannyo guno lwe gujja okukula n'okwongera okutunda eggwanga."

Mu December, Uganda yaakusindika omuvuzi omu mu mpaka z'ensi yonna eza FIA 'Arrive and Drive' Karting World Cup e Malaysia ate abalala 10 baakwetaba mu mpaka za Dubai Kartdrome Endurance Championship ezinaabeera e Dubai mu mwezi gwe gumu.