ESSANYU lyabugaannye abamu ku bazadde abaabadde e Lugogo ng'akademi ya Proline etendekebwa, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwe yasiimye n'ayitirawo ku Lwomukaaga.
Bino byatuuseewo nga waakayita olunaku lumu nga Kabaka teyeetabye ku mikolo gy'okusaba egyabadde e Kibuli ku Lwokutaano mu kujaguza amatikkira ge ag'emyaka 32. Kabaka, yayaniriziddwa nnannyini akademi eno ate nga yaliko ssita wa Cranes, Mujib Kasule.
Mujib Ne Kabaka E Lugogo Ku Lwomukaaga.
Okusinziira ku nsonda, okulabikako kwa Kabaka kwabadde kwa kyama era aba Proline, yaguddeko bagwe nga teri amanyi.
Abamu ku bazadde basindise abaana baabwe bamubuuzeeko. "Ndi musanyufu okufuna omuntu ow'amaanyi mu ggwanga era kino kinyongedde amaanyi nti emirimu gye nkola ku Proline waliwo abagigoberera era abagisiima," Mujib bwe yagambye.
Ku Proline, Omulangira Richard Ssemakookiro gy'atendekebwa wabula okwawukana ku banne abalala, tabeerayo nnyo. Proline, yakyazaako eyali ssita wa ManU, Rio Ferdinand n'Omukama Oyo