EMPAKA za ddigi ezigguddewo kalenda y’omwaka guno eza Mountain Dew Motocross Championship zikamudde abavuzi entuuyo nga buli omu alwana okumalira mu kifo ekisava okutandika n’obubonero obwegasa
Empaka zino zaanyumidde ku kisaawe kya Victoria Raceway Park e Garuga wabula ku mitendera 12 egyavuganyiddwaako, omutendera gwa MX 125cc n’ogw’abakazi ogwetongodde (WMX) gye gyasinze okucamula abawagizi n’okubakubya enduulu ez’oluleekereeke.

Digi
Bamusaayimuto Jerome Mubiru ne Miguel Katende be baatadde abawagizi ku bunkenke, bavuganyiza mu MX125cc, wabula Katende akyali omupya mu mutendera guno yataddewo okuvuganya era n’awangula ku mugatte gwa bubonero 57 ate Mubiru mu kyokubiri (54).
Ku laawundi ssatu ze baavuze, Katende yawanguddeko emugumu ate ebbiri bakira batuukira kumu ku kaguwa ne Mubiru ekibadde kikyaludde okulabika. Bakira batumbiiza ddigi mu bbanga, omu n’ayisa munne, eno bwe beetomera ne bagwa ng abwe basituka. Mubiru yamalidde mu kyokubiri n’obubonero 54 Ron Young (39) n’abalala.
Omutendera gw’abakazi ogwetongodde (WMX), omuwala omuto Jamaira Makumbi 11, yalese abakazi abakulu bamwasimula bugolo bwe yabamezze laawundi bbiri ku ssatu ezaavugiddwa.

Digi
Wadde abakazi bonna baavugidde wamu naye omutendera guno obubonero bwagabiddwa mu biwayi bibiri (abali wakati w’emyaka 9-14) ate okuva ku 15 okweyongerayo nabo baafunye bwanjawulo.
Makumbi wadde bonna yabeetisse naye yatwaliddwa nga kyampiyoni w’abali wakati w’emyaka 9-14. Yafunye obubonero 60, Agnes Nakanwagi (51), Maria Kasana (45) n’abalala.
Shamillah Kateete ye yaweereddwa obwa kyampiyoni bw’abasukka emyaka 15. Yakung’aanyizza obubonero 53, Asia Kasirye (49), Swansi Sambo (46), Shadia Kateete (45) n’abalala.

Digi
Abawanguzi mu mitendera emirala.
Riyadh Kateregga yawangudde ogwa 50cc jnr ku bubonero (60), Isreal Mpuga (50cc senior) obubonero 60, Ariella Katende (50cc abakazi) ku bubonero 60, Jude Kyle Musede (65cc) obubonero 60, Abigail Katende (65cc abakazi) obubonero 53, Jonathan Katende (85cc) obubonero 60, Gift Ssebuguzi (MX2) obubonero 60, Asaf Nathan (MX1) obubonero 50, Geoffrey Kayiira (MX Vets) obubonero 60