Abawanguzi
Omupiira (Balenzi)
Bukedea (4)1-1(2) Menta SS
Bawala
St. Noa Girls (5)0-0(4) Kawempe Muslim
Ensero eya 5x5
St. Marys Kitende (bawala)
Buddo (balenzi)
Ensero eya 3x3
Seroma (balenzi)
Mvara SS (bawala)
Okubaka
Buddo
Volleyball
Bukedea (bawala)
Bukedea (balenzi)
Handball
Gombe SS (bawala)
Gombe SS (balenzi)
Rugby
London college (balenzi)
Nkoma SS (bawala)
Essomero lya Bukedea Comprehensive lyetisse ekikopo kyomupiira ekyempaka za Elite ekyasookedde ddala mu byafaayo.
Empaka zino ezimaze ennaku essatu nga ziyinda ku Janan e Bombo zaakomekerezeddwa ku ssande eya wiiki ewedde nokukwasa abawanguzi ebirabo.
Bukedea okutwala kyaddiridde okukuba aba Menta SS ku luzannya olwakamalirizo 4-2 mu kakodyo kokusimulagana peneti oluvannyuma lwedakiika ekyenda okuggweera mu maliri aga goolo 1-1.

Bukedea
Menta yakulembedde omuzannyo okuva mu dakiika eye 16 mu kitundu ekisooka wabula mu dakiika ebbiri ezaayongeddwamu mu kitundu ekyokubiri aba Bukedea mwebaafunidde goolo eyekyenkanyi nga bayita mu muteebi Deus Niwaha.
Empaka zino aba Buddo ne kitende tezaabatambulidde bulungi nga bonna bawandiddwamu ku luzannya olwa kwota final. Buddo yaggyiddwamu Fortportal ate Kitende neggyibwamu Bukedea mu kakodyo kokusimulagana peneti.
Empaka zino era zaakomezzaawo embiranye wakati wa St. Mary’s Kitende ne Buddo abeeraze eryanyi mu mu mizannyo egyenjawulo.
Kitende yawangudde ensero eya 5x5 mu bawala oluvannyuma lwokukuba Buddo ensero 41-38 ate Buddo netwala ekya 5x5 mu bawala nga nayo ekubye Kitende.

Bukedea
Wabula omuzannyo ogwatadde abalabi ku bunkenke gwabadde gwa kubaka wakati wa Buddo ne Kitende. Buddo yawangudde lawundi zonna ennya okukakkana nga ezzeemu neyeediza ekikopo kyokubaka omulundi ogwokuna ogwomuddiringanwa ku mugatte gwa 88-76.
Mu mupiira ogwabawala St. Noa girls yeddizza ekikopo oluvannyuma lwokukuba Kawempe Muslim 5-4 mu kakodyo kokusimulagana peneti. Edaakika ekyenda zaaweddeko nga tewali alengedde katimba ka munne.
Bukedea yeetisse ebikopo bya volleyball mu bawala nabalenzi ate Gombe SS nayo newangula ekya handball mu bawala n’abalenzi.
Abalala abawangudde kubaddeko seroma ewangudde ensero eya 3x3 mu balenzi ate Mvara SS netwala mu bawala. Rugby awanguddwa london college mu balenzi ate Nkoma SS eye mbale netwala mu bawala.

Abawanguzi nga babakwasa ekikopo
President wekibiina ekitwala emizannyo gyamassomero ga siniya ekya USSSA Justus Mugisha yatenderezza omutindo ogwayoleseddwa amassomero ageetabye mu mpaka zomwaka guno ezomulundi ogwomusanvu. “ okuvuganya kubadde waggulu nnyo nadala mu mupiira, tulabye amassomero nga Fortportal ne Mnta nga zituuka ku luzannya oluddirira olwakamalirizo mu mpaka omuli Kitende ne Buddo”. Mugisha bweyagambye. Empaka zino zaakozeseddwa okwetegekera empaka za National ball games 1 ezigenda okubeera ku ssomero lya Seroma Christian high school e Mukono ku nkomerero yomwezi ogujja