Ebyemizannyo

Ebya baddiifiri okulagirwa balere Argentina bya ppa

NALI ddiifiri mu World Cup ya 2002 eyategekebwa South Korea ne Japan. Nalamula kum bategesi; South Korea - Slovenia ne South  Korea - Spain ku 'quarter'. Ekituufu, gwalimu ensobi naddala ku ggoolo Spain gye yateeba kyokka nga munnange eyava e Trinidad & Tobago yawanise dda bendera nti omupiira gwali  guyise.

Ali Tomusange
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

NALI ddiifiri mu World Cup ya 2002 eyategekebwa South Korea ne Japan. Nalamula kum bategesi; South Korea - Slovenia ne South  Korea - Spain ku 'quarter'. Ekituufu, gwalimu ensobi naddala ku ggoolo Spain gye yateeba kyokka nga munnange eyava e Trinidad & Tobago yawanise dda bendera nti omupiira gwali  guyise. Kamera zaalaga  nga ne ku layini gwali tegutuuse. Ggoolo ya Spain entuufu yattibwa  olw'ensobi  ey'obuntu.
Bwe nadda mu Uganda, twalumirizibwa okolerera abategesi (Korea).

Ekiriwo kati mu World Cup, be bantu okulowooza nti baddiifiri balagirwa okuyamba Argentina etuuke ku fayinolo mbu kuba baagala Messi azannye fayinolo.

Ku kitiibwa, okwemanya n'obwesimbu FIFA by'eyagala omuzannyo okutambuliramu, endowooza z'abantu si ntuufu.
Omusajja nga Collina, akulira baddiifiri mu nsi yonna,ku kitiibwa kye, tasobola kulagira baddiifiri kugemulira 'gundi' buwanguzi. Tekisoboka.

Nange kennyini, ssaamatira nnamula ya ddiifiri Omufalansa eyalamula Argentina ne Misiri. Marwan Attia yasinga Lisandro Martinez amaanyi, wadde yamusika essaati, naye kaali kamu ku 'busobyo' obuyitwako mu mpaka zino.
Ggoolo ng'enywedde, VAR alina okwetegereza olukwe lwayo oba terubaddeemu kisobyo. VAR yayingirawo, ddiifiri n'atta ggoolo.

Ekyennaku, ate VAR teyayingirawo nga Alvarez alinnye ekigere kya Salah mu ntabwe. Na kano kaali 'kasobyo'. VAR yandibadde mwenkanya nako n'akaloopa kuba omupiira bwe gwavaawo, nagwo wasibira mu ggoolo nga ttiimu eteeba y'ekoze 'akasobyo' nga bwe kyali kui ya Misiri eyattibwa.


Awo wokka we nalaba butali bwenkanya bwa VAR. Yabonereza obusobyosobyo, n'aka Argentina yandikalamudde n'awa Misiri peneti.  Naye nga tekisoboka baddiifiri kujjira ku biragiro bya ttiimu emu kuwangula

Tags: