OLUGENDO lw'omutendesi Jurgen Klopp olw'okuzza Girimaani engulu lukyamukalubidde oluvannyuma lw'okulemwa okuwangula emipiira 2 gy'asoose okubatendeka.
Klopp eyatendekako Liverpool n'abawangulira Premier ne Champions League, yadda mu bigere bya Julian Nagelsmann mu July ku ndagaano ya myaka 4. Yajja buli
omu asuubira nti mu kisanja kye, Girimaani yaakwakirawo wabula kikyagaanyi.
Ku Ssande, Girimaani yakubiddwa Greece ggoolo 1-0 eyateebeddwa Dimitrios Kourbelis mu ddakiika y'e 74. Mu gwasooka, baakola maliri ne Budaaki (1-1).
Greece eyabakubye, eri mu kifo kya 41 mu nsengeka za FIFA ate nga Girimaani ebadde emaze emipiira 10 egisembye nga tekubwa mu nsiike eno (bawangudde 7 n'amaliri 3).
Klopp, yaggumizza abawagizi nti ttiimu ejja kutereera kuba abazannyi bakyayiga sisitiimu ye etayanguyira buli omu.
Bastian Schweinsteiger, eyaliko ssita wa Girimaani yagambye nti, ttiimu tekyatiisa kyokka Klopp ajja kugisitula