Ebigambo eby'amagezi ne Margaret Nankinga

Jun 09, 2021

BANGI balowooza nti tebamanyi kukola ssente ate ng’ekizibu kyabwe kya butamanya kuzikozesa (Frank Clark).   

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Margaret Nankinga

  •  Ebiseera bya muwendo naye amazima ga muwendo okusinga ebiseera (Benjamin Disraeli). 
  • Bw’oba olina amazima g’oyagala okuggyayo, galage mu ngeri ey’omukwano, bwe kitaba ekyo amazima ne kagaleeta bombi bajja kusuulwa bweru (Mahatma Gandhi). 
  • Abasinga omuntu ababuulira amazima gwe batwala okuba omulabe waabwe asingira ddala (Plato). 

  • Omuntu ayonoona essaawa ennamba ey’ebiseera bye oyo aba tannazuula bukulu bwa biseera (Charles Darwin). 
  • Ssinga obadde n’essaawa munaana ez’okutemeramu omuti, mala essaawa mukaaga ku zo ng’owagala mbazzi ey’okugutemesa (Abraham Lincoln). 
  • Abawanguzi tebaggwaamu ssuubi n’abaggwaamu essuubi tebayinza kuwangula (Norman Mailer). 
  •  Abasajja abakulu be balangirira entalo kyokka abavubuka be bazirwana era be bazifiiramu (Benjamin Disraeli) 
  • Obugagga bwonna butandikira mu bwongo. Obugagga buli mu birowoozo si mu ssente (Robert Collier). 
  • Enzigi ezikuyingiza eri amagezi zibeera nzigule ekiseera kyonna (Benjamin Franklin). 
  • Amagezi agannamaddala gava mu kumanya nti tolina ky’omanyi (Socrates). 
  • Abantu basinziira ku bikolwa byo okukulamula so si ku bigendererwa byo (Tamanyiddwa). 
  • Bw’oba tolina ssente ekizibu kyo eba mmere, bw’oba n’essente ekizibu kyo kuba kwegadanga. Bw’oba byombi obirina ekizibu kyo byabulamu, bino byonna bw’oba obirina olwo n’otya okufa (J. P. Donleavy).   
  • Bw’owummula otalagga (Helen Hayes).
  • Toyinza kutegeera mukazi okutuusa ng’akututte mu mbuga z’amateeka (Norman Mailer).
  • Okuzuula nti osobola okukola ky’obadde olowooza nti tokisobola kye kyewuunyo ekisingira ddala (Henry Ford).
  • Kumpi buli omu amanyi okukola ssente, naye mu bantu akakadde oyinza okubulwa n’omu amanyi okuzikozesa (Henry David Thoreau).
  •  
  •  
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});