Ebigambo eby'amagezi ne Margaret Nankinga
Jun 09, 2021
BANGI balowooza nti tebamanyi kukola ssente ate ng’ekizibu kyabwe kya butamanya kuzikozesa (Frank Clark).

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Margaret Nankinga
- Ebiseera bya muwendo naye amazima ga muwendo okusinga ebiseera (Benjamin Disraeli).
- Bw’oba olina amazima g’oyagala okuggyayo, galage mu ngeri ey’omukwano, bwe kitaba ekyo amazima ne kagaleeta bombi bajja kusuulwa bweru (Mahatma Gandhi).
- Abasinga omuntu ababuulira amazima gwe batwala okuba omulabe waabwe asingira ddala (Plato).
- Omuntu ayonoona essaawa ennamba ey’ebiseera bye oyo aba tannazuula bukulu bwa biseera (Charles Darwin).
- Ssinga obadde n’essaawa munaana ez’okutemeramu omuti, mala essaawa mukaaga ku zo ng’owagala mbazzi ey’okugutemesa (Abraham Lincoln).
- Abawanguzi tebaggwaamu ssuubi n’abaggwaamu essuubi tebayinza kuwangula (Norman Mailer).
- Abasajja abakulu be balangirira entalo kyokka abavubuka be bazirwana era be bazifiiramu (Benjamin Disraeli)
- Obugagga bwonna butandikira mu bwongo. Obugagga buli mu birowoozo si mu ssente (Robert Collier).
- Enzigi ezikuyingiza eri amagezi zibeera nzigule ekiseera kyonna (Benjamin Franklin).
- Amagezi agannamaddala gava mu kumanya nti tolina ky’omanyi (Socrates).
- Abantu basinziira ku bikolwa byo okukulamula so si ku bigendererwa byo (Tamanyiddwa).
- Bw’oba tolina ssente ekizibu kyo eba mmere, bw’oba n’essente ekizibu kyo kuba kwegadanga. Bw’oba byombi obirina ekizibu kyo byabulamu, bino byonna bw’oba obirina olwo n’otya okufa (J. P. Donleavy).
- Bw’owummula otalagga (Helen Hayes).
- Toyinza kutegeera mukazi okutuusa ng’akututte mu mbuga z’amateeka (Norman Mailer).
- Okuzuula nti osobola okukola ky’obadde olowooza nti tokisobola kye kyewuunyo ekisingira ddala (Henry Ford).
- Kumpi buli omu amanyi okukola ssente, naye mu bantu akakadde oyinza okubulwa n’omu amanyi okuzikozesa (Henry David Thoreau).
Related Articles
No Comment