Bwotolongoosa nneeyisa osiibira bwereere
Apr 11, 2022
Mu kiseera kino nga tuli mu mwezi omutukuvu ogwa Ramadhan, abantu bangi bamala gasiiba nga tebafuddeeyo ku kugoberera nnono ya kusiiba era oluusi gye biggweera nga bakoze ebyo ebyawukana n’ensomesa wamu n’enneeyisa entuufu erina okugobererwa omusiibi.

NewVision Reporter
@NewVision
Sheikh Umar Mambo, amyuuka Imaam ku muzikiti gwa Mutungo - Mbuya Masjid Community e Mbuya agamba nti, kikyamu Omusiraamu yenna okulumwa enjala ng’asiiba naye nga talongoosezza nneeyisa ye era abeera asiibidde bwereere.
Sheikh Mambo agamba nti, waliwo empagi ezifuga okusiiba era nga enkulu ziri bbiri nga kuno kuliko: okukakasa omwoyo gwo nti, ogenda kusiiba wamu n’okwekuuma ebintu byonna ebiyinza okukusiibulula.
Agamba nti, omuntu nga asiibye alina okubeera n’engeri gye yeeyisaamu okwawukanako ne ku bwe gubeera mu nnaku endala olw’enkizo eri mu mwezi guno ogwa Ramadhan.
Mu bimu ku bino mwemuli;
- i) Okumanya enkozesa y’olulimi lwe: Omusiraamu yenna ng’asiibye ateekeddwa okwefuga n’okumanya bigambo bya kikula ki by’ayisa mu kamwa ke ne ku lulimi lwe.
- ii) Okweggyamu obugayaavu: Omusiibi yenna abeera alina okweggyamu obugayaavu kubanga buyinza okumulemesa empeera. Kino Omusiraamu alina kukikola ng’ayita mu kukola Ibaada kubanga mu kiseera ky’ekisiibo Ibada zino zikubisibwamu. Okugeza Omusiraamu singa asaala esswala ya Sunna, agifunamu empeera za Faradha ate esswala ya Faradha gy’abeera asadde n’ekubisibwaamu emirundi 70.
Shiekh Mambo
iii) Omusiibi alina obusobozi abeera alina okusiibulula abo bonna abatalina: Enkola eno ya bukkiriza era omuntu yenna abeera asiibuludde omulala akifunamu empeera mpitirivu.
- iv) Okuyitiriza okutendereza Allah: Omusiibi yandibadde yeemanyiiza okutendereza Allah kubanga kulimu empeera nnyingi naddala mu kiseera kino ekya Ramadhan
Mu Surat Al-Bayyina 98:05 Allah atugamba nti, “Abantu tebalagirwa kukola kintu kirala kyonna wabula basinze Katonda oyo omu yekka omutonzi nga batukuza eddiini ku lulwe …..’’ Aya eno etegeeza nti, tulina okufuba okukola emirimu emirungi ku lwa Allah so si ku lwa nsonga ndala yonna.
Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba mu Hadith emu nti, “Emirimu gyonna gigenda na kumalirira era buli muntu yenna agenda kusasulibwa olw’okumalirira kwe”.
Sheikh Mambo ategezezza nti, abasiibi twandibadde tukozesa Ramadhan eno okugifunamu eby’okuyiga era nga bwe tweyisa mu Ramadhan, bwe twandibadde tusigala nga tweyisa kubanga ekyo Allah ky’asinga okwagala.
No Comment