Anoonya ennyumba ey’okupangisa sooka weetegereza bino
Jan 28, 2023
ABANTU bangi buli omwaka lwe guggwaako batera okuva mu mayumba ge babadde bapangisa ne bagenda mu gaabwe bwe babeera bazimbye ate abalala ne banoonya amayumba amalala ag’okupangisa olw’ensonga ez’enjawulo.Abakyusa okugenda mu mayumba amalala oluusi ffamire zibeera zigezze, abalala nga banoonya bwe bakendeeza ku ssente ze babadde basaasaanya ku kupangisa naddala mu mbeera eno ey’ebyenfuna eyeeyongedde okukaluba.

NewVision Reporter
@NewVision
ABANTU bangi buli omwaka lwe guggwaako batera okuva mu mayumba ge babadde bapangisa ne bagenda mu gaabwe bwe babeera bazimbye ate abalala ne banoonya amayumba amalala ag’okupangisa olw’ensonga ez’enjawulo.
Abakyusa okugenda mu mayumba amalala oluusi ffamire zibeera zigezze, abalala nga banoonya bwe bakendeeza ku ssente ze babadde basaasaanya ku kupangisa naddala mu mbeera eno ey’ebyenfuna eyeeyongedde okukaluba.
Mulimu n’ababeera bakyusizza emirimu gye bakola nga kimwetaagisa okupangisa
mu kifo ekiriraanye ne waakola.
Ng’oggyeeko ensonga ezo waggulu, mulimu n’ababeera batandika obutandisi okupangisa okugeza ng’amalirizza okusoma n’atandika okukola oba nga yeetongodde n’ava mu bazadde, abooluganda mpozzi n’emikwano.
Ennyumba ez’okupangisa nnyingi mu bitundu eby’enjawulo naye kyandikubeerera ekizibu ggwe anoonya ennyumba y’okupangisa okufuna gy’oyagala. Waliwo abeekwata omulimu guno nga kumpi obasanga mu buli kitundu ng’omutegeeza butegeeza ekika
ky’ennyumba gy’oyagala okupangisa.
Babeera ne ofiisi oba bagenda batimba obupande kwe bateeka amasimu gaabwe g’okuba ne mukwatagana. Wabula mu babbulooka mulimu abalungi n’abakola obufere ne banyaga abapangisa.
Robert Mutaawe, y’omu ku babbukooka mu kitundu ky’e Namugongo annyonnyola obukodyo babbukooka abakyamu bwe bakozesa ne bafuna ssente mu bapangisa;
1 Babbulooka abamu bapaaza ebisale by’ennyumba ng’omupangisa bw’akkiriza banguwa mangu okutemya ku nnannyini nnyumba n’amusaba enjawulo ye oba okugigabana. Okugeza ennyumba bw’ebeera ya 400,000/-, weekanga bbulooka ayongeddemu 100,000/- nga zino azikima ewa nnannyini nnyumba buli mwezi oba engeri endala yonna gye bakkaanyizza.
Mulimu abakkaanya okumuwa enjawulo ye ku myezi esatu oba ku mukaaga omupangisa z’asooka okusasula.
Oluusi bw’oyogera ne nnannyini nnyumba osobola okuzuula ekituufu. 2 Babbulooka olw’okwagala ssente tebafaayo kuwabula mupangisa ebizibu ebibeera ku nnyumba oba ekitundu mweri. Okugeza bayinza okukusasuza ennyumba ng’ebyokwerinda
byawo si birungi. Mulimu ebitundu ebifung’amyemu abamenyi b’amateeka nga bwe batakuyingirira kiro ne bakunyaga, bakuteega mu kkubo nga wabaawo essaawa z’otolina kusussa kutambulirako naddala ekiro.
3 Abalala ennyumba ne bwe zibeera ziyingiramu amazzi mu biseera by’enkuba, babbulooka abalulunkana okufuna ensimbi tebakulabula era bangi bakifunamu kuba omupangisa bw’akizuula naddala ng’enkuba etonnye, ayinza okusenguka olwo ate ng’alina kufuniramu mupangisa omulala.
4 Waliwo babbulooka abamu abakolagana n’ababbi ng’olumala okusenga wayitawo akaseera katono ne bakuyingirira. 5 Babbulooka abamu bapanga abantu abalala abeefuula bannannyini mayumba era bwe mukkaanya n’osasula toddamu kubalabako. Bano batera okusaba ssente entonoko olwo omupangisa n’acamuka okusasula.
6 Bugembe agamba nti omupangisa alina kusooka kwetegereza bbulooka gw’aba agenda okukozesa okwewala abafere. Agamba nti mulimu abasigala balambuza abaagala okupangisa ennyumba kyokka nga yatwalibwa dda olwo ng’agenderera kufuna ssente ayagala okupangisa z’asasula okumulaga ennyumba ezipangisibwa oba ziyite eza
‘search fee’. Ennyumba esaana okwetegereza embeera gy’erimu, ebirina okumeeramu
okugeza amazzi, kaabuyonjo, ebinaabiro n’ebirala okusobola okufuna kye weetaaga
era nga kigya mu ssente z’obeera ogenda okusasulira.
Sooka kwetegereza akupapiriza okusasula
Mutaawe agamba nti mulimu babbulooka abapikiriza omupangisa okusasula ekitundu ku nnyumba gy’alabise nti asiimye baleme kuddamu kugirambuza balala kyokka ate bw’otuuka ku bukwakkulizo bwa bannannyini nnyumba ate nga buyinza okukulemesa okugisulamu. Mubaamu bannannyini nnyumba
nga tebakkiriza bapangisa balina abaana n’ebirala.
Mulimu babbulooka abayinza okukutwala ku nnyumba eriko okusika omuguwa ku bwannannyini oba nga yatundibwa n’edda Ennyumba ekyalabika obulungi
nga eno tebaako bya kutereeza nnyo singa obeera ogipangisizza.
AKEEZIMBIRA Teweenyooma naawe osobola okuzimbamu mikono gy’abantu abalala ne weesanga mu kattu singa obeera oyanguye okusasula ssente zo. Mutaawe agamba nti omuntu edda okufuna ennyumba ey’okupangisa
yayitanga mu ssentebew’ekyalo era ng’asooka kujja n’ebbaluwa eyavanga mu
kitundu gy’abadde asula.
Yalabudde nti omupangisa yandifubyenga okwebuuza ku LC okumanya nnannyini
nnyumba omutuufu, amateeka agaziriko oluusi ne bakuwabula ne ku bizibu ebiziriko okwewala okusigala mu maziga oba okwemagaza singa obeera osasudde mangu.
No Comment